KKOOTI ekola ku misango gy’enguzi n’obukenuzi e Kololo eyisizza ekiragiro omulundi ogusembayo ekiyita omubaka wa Kawempe South era ssentebe w’akakiiko akakola ku kulondoola emirimu gy’ebitongole bya Gavumenti Mubarak Munyagwa okweyanjula mu kkooti okwewozaako ku misango gy’okulya enguzi n’okufuna ssente mu lukujjukujju.
Munyagwa okuyitibwa mu kkooti kiddiridde omugagga Francis Kakumba okumuggulako omusango gw’okumuggyako ssente ezisoba mu bukadde 100 ng’amusuubiza okuwa mutabani we Isaac Muyanja ekifo ku kakiiko k’ettaka aka Kampala District Land Board, Munyagwa kyatakola okutuusa bwe yava ku bwa Ssentebe bwe Kawempe.
Omulamuzi Lamunu amaze ebbanga nga amuyita mu kkooti yeewozeeko naye nga talinyayo, kwe kuyisa ekilagiro ekisembayo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com