MINISITA omubeezi ow’empisa n’obuntu bulamu Father Simon Lokodo alabudde abakulembeze b’enzikiriza abamu okwewala omuze gw’okunyaga ensimbi ku bagoberezi babwe mu lukujju kujju nga babalimba nti bagenda kubakolera eby’amagero, nagamba nti kuluno anaalopebwa wakukolebwako nga amateeka bwe galagira.
Lokodo agamba nti akizudde nga eno yeemu ku nkola empya ey’obulyi bwe nguzi ekkudde ejjembe mu Ggwanga, eyetagisa okunonyerezebwako mu bwangu ddala.
“Obuyaaye mu masinzizo bunsobedde, era kati butuuse ku ddaala lya waggulu nnyo, kubanga abasumba batandise n’okulimba limba abantu basasulire eby’amagero nga gyoli beefudde Katonda, olwo abantu ne batuuka n’okutunda abyabwe batwale ensimbi basobole okwefunira ku kye bayita “ekyamagero” ebyo nga nkyali Minisita sijja kubikkiriza era nja kubavunaana mu mateeka” Lokodo bwe yagambye.
Okwogera bino yabadde mu musomo yabadde mu kibuga kye Fort Portal mu musomo ogukwata ku nguzi ogw’etabyemu abakungu ba Disitulikiti ezri mu bugwanjuba zonna.
Yalagidde ba RDC mu bitundu bino okuvaayo bunnambiro okunonyereza ku Makanisa agajjja kubantu ensimbi mu nkola ey’obufere, gyagamba nti elese abagoberezi nga banaku olw’okubatunza ebintu byabwe mu linnya ly’okubakolera eby’amagero.
“Mwe ababaka ba Gavumenti mulina obuyinza obwenkomeredde okuteekawo okunoonyereza kwonna, saako n’okukwata abantu bonna ab’enyigira mu kufera abantu nga beekwese mu ddiba ly’okubeera abasumba, bano temunninda yadde okuntegezaako mukwate bukwasi ebilala mumbulire nga bali ku Poliisi” Lokodo bwe yayongeddeko.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com