GAVUMENTI ya Uganda evuddeyo n’etegeeza nti telina muyiggo gwonna gw’etaddewo ku Banyarwanda abali mu Uganda nga abantu abamu bwe babitebya, nti era tewali munnansi wa Rwanda yenna yakwatiddwa babyakwerinda ba Uganda ku nsonga yonna.
“Twagala okutegeeza baganda baffe ab’eRwanda nti tewali ayinza kutulugunya bantu baabwe yadde okubasiba mu makomera” Omwogezi wa Gavumenti Ofono Opondo bwategezezza.
Okw’ogera bino Opondo abadde ayanukula ku maloboozi ag’avudde mu bantu b’abulijjo nga bagamba nti Rwanda okusalawo okuggala ensalo zaayo nga etangira bannaUganda okuyingira ewabwe yadde okuyingizaayo ebyamaguzi byabwe olunaku lwe ggulo.
Wabaddewo ebiyitingana nti Rwanda okutuuka okuggala ensalo zaayo kyavudde ku kuba nti waliwo bannansi ba Rwanda abaabadde bakwatiddwa mu Uganda ne baggalirwa, bino Opondo agamba nti ssi bituufu kubanga bannansi ba Rwanda bonna abali mu Uganda bali bulungi ddala era bakola emirimu gyabwe awatali kutataganyizibwa.
“Ebidduka byonna ebiva e Rwanda biyingira bulungi mu Uganda, naye ate kyewunyisa nti ebyaffe tebiyingira waabwe, naye nga abantu bbo babakkiriza okuyingira, naye abakungu mu minisitule y’ensonga ze bweru mu Gavumenti ya Uganda bagezaako okw’ogerezeganya n’abeRwanda, tuli esuubi nti bijja kuterera.” Opondo bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com