OMUKUBIRIZA w’olukikiiko lwe Ggwanga olukulu Rebeka Alitwala Kadaga avuddeyo n’awagira empaka z’abakyala Mukama be yawa obubina obunene n’amakudde, oluvanyuma lw’abategesi b’empaka zino okumutegeeza nti ekigendererwa si kyakufuula Bakyala bano kyabulambuzi nga abantu bwe babadde babisala.
Bano ababadde bakulembeddwamu eyalondebwa Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi okuddukanya empaka zino Ann Mungoma bategezezza Sipiika nti abantu bye baboogerako ssi bituufu wabula baagala kubalemesa kintu kyabwe ne kigendererwa eky’okubafiiriza ensimba ezinza okubayamba.
Mu kwanukula Kadaga agambye nti talabamu kintu kibi kyonna okusinziira nga Mungoma bwamunyonyodde, ate oluvanyuma n’akizuula nti Mungoma ono mwana we yali omujaasi mu ggye lye ggwanga era nga kitaawe yali munnabyamizannyo nga kirabika n’omwana we kyagoberedde.
“Mbasaba abaana bano muboogereko mpola kubanga bwe tuba tugamba nti omuntu okuba omulungi kilungi ate ffigga yo ssi nnungi?” Kadaga bwe yagambye.
Pulezidenti Museveni naye gye buvuddeko yayambalira ebibiina bya bakyala ebyali byefunyiridde okulemesa empaka zino, nagamba nti mu kifo ky’okubavumirira bandibadde boogera nabo bulungi ne balaba enkola yaabwe.
Abantu ab’enjawulo bavuddeyo ne bavumirira abategesi b’empaka zino, kyokka abamu nga baziwagira ekibongedde amaanyi ne bagenda nazo mu maaso.
“Abatwogerako ebikyamu batuleke kubanga tetwazza musango okubeera n’obubina obunene oba ne ffiga, abaana ba Uganda omuntu aba n’entumbwe ennungi, akabina akalungi, amaaso amalungi ne bilala kyokka nga mwavu, kati naffe tuvuddeyo tulage abantu kye tulinawo” Omu ku bawala bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com