OMULIMU gw’okuddabiriza eddwaliro ekkulu erye Kayunga gutambula, era nga kati kimaze okukakasibwa nti omwaka ogujja eddwaliro lino lijja kukwasibwa Gavumenti nga liwedde bulungi.
Eddwaliro lino eribadde ku mutendera gwa disitulikiti kati lyakulinyisibwa omutindo lifuuke lya Region.
Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Diana Atwine yagambye nti ekifo eky’omulembe awakebererwa omusaayi (laboratory) ekizimbibwa ku ddwaliro e Kayunga kyakuteekebwa ku mutindo gwa nsi yonna.
Dr. Atwine okwogera bino yabadde alambula okulaba omulimu gw’okuddaabiriza eddwaliro ly’e Kayunga n’okuligaziya wegutuuse nga gwakuwemmenta obuwimbi 70.
Dr. Atwine yagambye nti eddwaliro lino erizimbibwa aba Arab contractors bwe linajjibwako engalo omwaka ogujja lyakusuumusibwa lituuke ku mutendera ogwa “regional referal”.
Eddwaliro libadde lya bitanda 100 wabula kati baligaziyizza nga lyakuyingiza abalwadde 300 abeetaaga ebitanda.
Kuzimbiddwako ennyumba z’abasawo abakolerawo wamu n’abo abayizi abasoma obusawo baakusuzibwa munda.
Kuzimbiddwaako n’ebifo abakugu mwe bakeberera endwadde enkambwe ezeetaaga Bakakensa.
Dr. Atwine yasiimye omulimu abazimbi aba Arab contractors gwe baakakolako mu bbanga ery’emyezi mwenda okuva lwe baatandika era nga omulimu gonna gwakukulungula ebbanga lya myaka ebiri.
Akulira omulimu gw’okuzimba eddwaliro lino Eng Hytham Elderby yagambye nti omulimu kati bagumazeeko ebitundu 65 ku 100, nagamba nti omwaka guno we gunaggwerako bajja kuba balina we batuuse.
Yagambye nti ebizimbe ebyali eby’okuddabiriza ebisinga biwedde era nga abasawo kati babikozesa okujjanjaba abantu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com