ENTEKATEEKA ziwedde okuyita mu Minisitule ye nsonga z’omunda ne z’ebweru okusobozesa Poliisi okuyita munnamaggye Major General Matayo Kyaligonza abitebye ku nsonga z’okukuba omuselikale w’okunguudo Esther Namaganda.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga ategeezezza bannamawulire ku lw’okubiri nti ensonga baazikutte n’amaanyi era bakoze enteekateeka okulaba nga Maj. Gen. Kyaligonza yeeyanjula ku poliisi mu bwangu aggyibweko sitetimenti ku misango gy’agambibwa okuzza.
Enanga yategeezezza nti poliisi ekkiriza okwetonda kwa UPDF ku byonna ebyatuusiddwa ku Sgt. Namaganda wabula n’agamba nti bataddewo okubuuliriza kwa mirundi ebiri okusobola okutuuka ku ntikko y’ensonga zino.
Ttiimu esooka, Enanga yategeezezza nti ekulirwa atwala poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano egenda kunoonyereza ku nneeyisa ya ddereeva wa Kyaligonza ku ngeri gye yamenyeemu amateeka g’ebidduka.
Ttiimu eyookubiri egenda kukulirwa atwala bambega mu Kampala n’emiriraano egenda okunoonyereza ku Kyaligonya n’abakuumi be.
Enanga yannyonnyodde nti ttiimu zombi poliisi z’etaddewo zigenda kukolagana n’ekitongole ky’amagye ekya Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) naddala mu kuggya sitatiment ku bakuumi ba Kyaligonza ababiri.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com