OMUBAKA Mubarak Munyagwa olubadde okutuuka mu offiisi y’akakiiko akanoonyereza ku nkozesa ye nsimbi mu bitongole bya Gavumenti COSASE naatandikirawo okubanja bamuwe omumyuka alyooke atandike bulungi emirimu gye.
Munyagwa agamba nti ddembe lye okuba n’omuntu amumyuka aleme kumenyeka nnyo n’amirimu gya offiisi ennene bweti eyamuwereddwa.
“Ngenda buli kaseera kubanja Sipiika n’akulira oludda oluvuganya bampe omuntu amyuuka kubanga nange mbeera najagala nfisseewo akadde akakola ku byange nga omuntu, awo abeera anyambako ku mirimu” Munyagwa bwe yagambye.
Mu kusooka akulira ekibiina kya FDC Patrick Amuriat yali alonze omubaka wa Rubaga South Kasibante Moses amyuke Munyagwa, kyokka Sipiika Rebecca Kadaga nga yeyambisa obuyinza obumuwebwa okubeera nga y’akulira ababaka abatalina ludda mu palimenti nagaana era naamulonda okutuula ku kakiiko akakakasa ababa balondeddwa ( Appointments Committee).
Okuva olwo abakulira oludda oluwabula Gavumenti babadde bagezaako okukkirizisa Sipiika aleke kasibante akole ne Munyagwa naye yagaana, ekyaletawo ekifo ky’obumyuka okusigala nga kikalu.
Munyagwa era asekeredde abalowooza nti tajja kusobola offiisi eno, nagamba nti yali meeya wa Kawempe emyaka 5 era yali atuuza enkiiko buli kaseera kyagamba nti kyamuwa obumanyirivu okusobola okuddukanya emirimu mu Gavumenti ez’ebitundu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com