Mu mwaka gwa 2016 alipoota y’omubalirizi we bitabo bya Gavumenti yalaga nti yadde gavumenti ewereza ensimbi okuyambako amalwaliro gaayo, naye ensimbi ezisinga ziggwera mu kusasula mazzi n’amasanyalaze, ate nga n’olumu tezimala, kino ne kileka nga ebitongole ebimu tebikwatiddwako.
Kiberu era yalaze n’obwetaavu bw’okuba nti balina abasawo batono abakebera omusaayi, nagamba nti eddwaliro lyonna lilrina abasawo 10 bokka nga bano tebasobola kumala kubanga abalwadde baba bangi ate abamu ne bakooyera mu layini nga balinda okukolwako.
Bino yabitegezezza omuwandiisi we nkalakkalira mu Minisitule ye by’obulamu Diana Atwine, bweyabadde alambuala amalwaliro agenjawulo nga ne lye Kawolo kwolitadde ku nkomerero ya wiiki ewedde.
Atwiine mu kusooka yebazizza olw’omulimu ogukolebwa okusobola okugaziya eddwaliro lye Kawolo, nagamba nti agenda kulaba nga bayambako ku nsonga ya masanyalaze, saako n’okwongera ku muwendo gwa basawo mu ddwaliro lino.
Mu kiseera kino eddwaliro lino liri mu kugaziyizibwa omulimu ogugenda okumalawo ensimbi obuwumbi 39, nga omulimu gukolebwa kkampuni yea Excel Construction Compony.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com