OMUBAKA wa Bugweri mu Palimenti Abdul Katuntu kyadaaki akwasizza Ssentebe omuggya ayalondebwa okuddukanya akakiiko akalondoola emirimu mu bitongole bya Gavumenti COSASE Mubarak Munyagwa era nga ye mubaka akiikirira Kawempe south mu Palimenti atambuze emirimu.
Sipiika Rebecca Kadaga yali awadde omubaka Katuntu obuyinza agira addukanya akakiiko kano yadde nga ebanga lye lyali liweddeko, nagamba nti olw’obukulu bw’omulimu ogwali gwamuweebwa okunonyereza ku mivuyo egy’etobeka mu kutunda amabbanka 7, nga yali ayagala asooke agumalirize aweeyo ne lipoota.
Wiiki ewedde Katuntu yamaliriza bulungi omulimu guno era naawayo lipoota ye er olukiiko lwe ggwanga olukulu, ababaka ne bagikubaganyako ebirowozo.
Olwaleero ofiisi agiwaddeyo era ne yetonda okulwawo okugimukwasa, naye namusubiza okumubererawo mu buli nsonga yonna bwanaba amwetaaze okumuyambako.
Nga tanamukwasa ofiisi Katuntu alaze munyagwa bye batuuseko ye ne banne bwe babadde ku kakiiko, omuli okukaka ba musiga nsimbi abachina ne bakomyawo obuwumbi 42 ze baali bafunye mu mankwetu, ensimbi abakozi b’ekitongole kye misolo ze baafuna mu makubo agatali matuufu, emivuyo mu Centenary Park ne bilala bingi.
Oluvanyuma Munyagwa mu kwogera kwe yebazizza Katuntu okuwaayo offiisi mu mirembe era nalaga obwetaavu bwokumuyambako kubanga engatto z’agenzeemu nnene nnyo, era gambye nti tagenda kuttira muntu yenna ku riiso singa anaaba nga abulankanyizza ensimbi z’omuwi w’omusolo nasubiza okubakolako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com