EKITONGOLE kya Poliisi ekikola ku kunonyereza ku misango ku lw’omukaaga kyabitaddemu engatto okukakkana nga kizinzeeko amaka g’omuzungu munnansi we Ggwanga lya Belgium Bernhard Bery Glaser 72, agambibwa nti abadde yeerimbika mu kulabirira abaana abato ababa batulugunyiziddwa, kyokka oluvanyuma n’abakkakanako n’abakabasanya.
Amaka gano gasangibwa ku kyalo Mwena mu Town Council ye Kalangala, nga kigambibwa nti ono yaatekawo amaka mwabadde agamba nti alabiririramu abaana ababa basobezeddwako, abatulugunyiziddwa ne badduka mu maka gaabwe saako naabo ababa babuze.
Mu maka gano agamanyiddwanga Ssese Humanitarian Services & Bery’s place, era nga muno abadde akuumiramu abaana abasoba mu 40 nga bonna bawala ab’emyaka egiri wakati wo 6-23, wabula nga Poliisi we yatuukiddeyo nga abinyise mu nsuwa era nga n’abaana abamu tebaliiwo n’ekwatamu mukyala we Ingrid Dilen, saako n’okununula abaana 11 bonna ne baleetebwa e Kampala okusobola okubajjako obujulizi.
Kyategerekese nti amaka gano gabadde gamaze emyaka 10 ku Kalangala era nga Poliisi ne bitongole ebikola ku nsonga z’amaka bwe bifuna abaana abatulugunyiziddwa bibatwala mu maka g’amuzungu ono abakuume, yadde nga era kyategerekese nti tegabadde mawandiise okusinziira ku Willy Nkumbi avunanyizibwa ku nsonga z’amaka n’abaana mu Disitulikiti ye Kalangala.
Glazer okutuuka okunonyezebwa kiddiridde abakulira ekitongole kya People In Need Agency PINA ekiyamba ku baana abato abalwadde b’amukenenya okwekubira enduulu eri Poliisi oluvanyuma lw’okukyala mu maka gano ne basanga embeera abaana gye balimu nga yenyamiza.
Akulira ekitongole kya PINA Asia Namusoke Mbajja yategezezza nti bwe yakyalira amaka omukuumirwa abaana, yagezaako okwetegereza butya abaana bwe basula era nakizuula nti baali basula mu nyummba emu ne Glazer ate nga abawala abakuzeemu kko basula mu kisenge kimu naye mwasula.
“Oluvanyuma lw’okukizuula nti wandibaawo ekitali kituufu ekigenda mu maaso wakati mu maka gano nasalawo okusulawo neetegereze ekigenda mu maaso saako n’okwogerako n’abaana bano, naye ekiro eko abaana ebintu bye bannyumiza omuzungu ono byabakola ku myaka emito gye balina byammalamu amaanyi, kwe kusalawo ntandike okumulinnya akagere ndabire ddala oba bituufu.
Bantegeeza nti Musajja mukulu ono gwe baali batwalanga kitaabwe n’abamu jjajjabwe, abakakkanako n’abasobyako nga yerimbise mu kumukola massaagi omubiri n’ebitundu bye eby’ekyama, nga n’olumu yeganzika ku bawala 4 omulundi gumu
Ekyewunyisa ono tasosola mu myaka kubanga n’obuto ddala obuli mu 4-8 abukozesa ebintu ebitali nga okumukola massaagi omubirigwe gwonna nga kwotadde ne bitundu bye kyaama.
Nagezaako okwetegereza ekisenge kye nga mulimu kkamera etunudde mu buliri bwe saako Kompyuta ekika kya Laptop ne nnene ey’okumeeza ebiteberezebwa okuba nti by’akozesa okukwata ebifaananyi nga akabasanya amabujje.” Namusoke bwe yategezezza.
Yayongeddeko nti abawala bonna abali mu kifo kino balina abagabi b’obuyambi ababayambako okusoma, saako ne by’etaago ebilara nti kyokka teri muwala asobola kufuna buyambi buno okujjako nga akkirizza okwegatta naye mu mukwano bwagaana nga amugoba, nga kwogasse n’okumumma emmere.
Omuzungu ono yakwatibwako mu mwaka gwa 2013 navunanibwa omusango gw’okukabasanya abaana abato balabirira kyokka n’ateebwa nga obujulizi obumuluma obutereevu bubuze.
Kigambibwa nti ab’obuyinza e Kalangala babadde bategezebwa ku nsonga eno naye nga bonna ebiseera ebisnga babeera ku ludda lwe era nga kyatuusa nabamu okutabukira banaabwe nga bagamba nti baali balemesa enkulakulana omuzungu gye yali alaeese okuyamba ku baana abali mu mbeera embi.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga yategezezza nti Bery bamusuubira okulabikako ku mande yenyonyoleko ku misango egy’amugguddwako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com