OMUBAKA wa Munisipaari ye Mityana mu Palimenti Francis Zaake Butebi asanze akaseera akazibu ku kooti etuula mu Arua, bwatereddwa ku kakalu ka kooti ate naddamu okukwatibwa abapoliisi ababadde bamulindiridde wabweru.
Zaake yakwatiddwa olunaku lwe ggulo bwe yabadde ali mu Kampala oluvanyuma lw’okuva mu palimenti nga addayo eka, yasoose kutwaliibwa ku CPS mu Kampala oluvanyuma mu kiro n’ayongerwayo mu Disitulikiti ya Arua gyagambibwa okuddiza emisango egimuvunanibwa, okuli ogw’okutoloka mu ddwaliro awatali kumanyisibwa baali bamukutte saako n’okugaana okuddayo okweyanjula ku poliisi mu bugenderevu.
Ku nkya ya leero Omulamuzi Daniel Lubowa olubadde okumuta ku kakalu ka kooti aka miliyoni 50 agatali g’abuliwo ate abasajja ababadde wa bweru wa kooti ne baddamu ne bamukwata nassibwa mu kabangali ya Poliisi natwalibwa e Gulu banne gye baavunanibwa emisango gy’okulya munsi olukwe nga kitegerekese nti naye bayinza okumuvunaana emisango gye gimu.
Puliida we Medard Lubega Seggona agambye nti bamaze okutuuka ku kooti ye Gulu era nga bakola kye basobola okulaba nga bamweyimirira ayimbulwe ku kakalu ka Kooti.
Ono emisango gyonna egimuvunanibwa yagizza mu kiseera we wabererawo okulonda okwokuddamu mu kifo ky’omubaka wa Palimenti owa Arua Munispality bwe baali bagenze okunonyeza munaabwe Kassiano Wadri obululu, era omwali n’okulumba emmotoka z’omukulembeze we ggwanga emu neyasibwa endabirwamu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com