ABAKULEMBEZE mu bwa Kamuswaga bwa Kooki batandise kawefube agendereddwamu okutema tema mu kitundu ekitwalibwa Obwa Kamuswaga mu Ssaza lye Kooki okusobola okutondawo amasaza 3 agegenda okuba ag’obwaKamuswaga nga beekutudde ku Buganda.
Okusinziira ku Katikkiro w’obwaKamuswaga Haji Iddi Kiwanuka agamba bagenda kutondawo amassaza omuli Mayango, Ddungu saako ne Bulaga, era nga kino bakikoze oluvanyuma lw’okwebuuza ku Bataka mu Kitundu kino.
“Tusisinkanye abataka abamanyi obulungi ekitundu kino saako n’obwaKamuswaga ne batutegeeza nti amassaza ago gagenda kutuyamba nnyo okusobola okuyamba abantu baffe saako n’okubakulakulanya.” Kiwanuka bwe yategezezza.
Yanyonyodde nti eSsaza lye Bulaga ligenda kutwala amagombolola okuli Kacheera, Lwamaggwa, Ddwaniro ne Kagamba, ate Ddungu etwale Rakai Town Council, Lwanda, Kifamba ne Byakabanda ne Mayango etwale Kyalurangira, Kiziba ne Kibanda, era nga abaami ba Kamuswaga abagenda okukulembera amaSsaza gano bakulondebwa nga 15 omwezi gw’omusavu ku mukolo gw’okujjukira amatikkira ga Kamuswaga agagenda okubeera mu gombolola ye Lwamaggwa.
Kino kyeraze lwatu nti abakulembeze mu Ssaza lya Buganda erye Kooki baagala kwekutula ku Buganda.
Bino we bijjidde nga mu wiiki 2 emabega ekika kya Babiito ekikulembera essaza lye Kooki kyalangirira nga endagaano gye baalina ne Buganda nga bwetakyalina makulu oluvanyuma lwa Buganda okugaana okutuukiriza bye bakkiriziganya.
Kooki kyali kitundu kya bukulembeze bwa nsikirano okutuusa mu 1886 bwe kyagattibwa kku Buganda.
Mu ndagaano eyawandiikibwa wakati wa Kamuswaga eyaliko ebiseera ebyo Hezekia Ndawula wamu ne Kabaka wa Buganda Daiel Mwanga bakkiriziganya okwegatta ku Buganda nga naye baalina okusigaza ekitiibwa kyabwe ekkyenjawulo obutafananako nga amassaza amalala17
Omu ku Bataka ba Kooki Samson Kakembo agamba nti kino ssi kipya amassaza gaabwe bagenda kugazukusa buzukusa kubanga gaaliwo nga tebanegatta ku Buganda.
Stanley Ndawula omwogezi w’obwaKamuswaga yagambye nti balina amagombolola 11 nga ago ge bagenda okugatta okusobola okukola amassaza, kyagamba nti kijja kubanguyira okulambula saako n’okukulakulanya abantu baabwe abawangalira e Kooki.
Omwogezi w’obwaKabaka bwa Buganda Noah Kiyimba yagambye nti tebanaba kufuna kumanyisibwa ku nsonga eno, nategeeza nti Kooki likyali limu ku maSsaza g’obwaKabaka bwa Buganda.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com