OLUNAKU lwe ggulo amyuka Ssabawolereza wa Gavumenti Mwesigwa Rukutana yavudde mu mbeera naatabukira abakungu b’akakiiko akatekebwawo mukamawe Pulezidenti okunonyereza ku mivuyo egiri ku ttaka mu Ggwanga akaukulemberwa omulamuzi Catherine Bamugemereire, nga agamba nti tebamuwadde kitiibwa naye nababoggolera, ekyaddiridde kuwanyisiganya bigambo oluvanyuma ne bamugoba mu kakiiko.
Minisita Rukutana yagambye nti abantu bano aludde nga abagoberera mu ntuula zaabwe ez’enjawulo era nga olumu kimuyisa bubi nga baboggolera abantu, era bwe yazze naye bamukoze kintu kye kimu.
“Ndi muntu alina okuweebwa ekitiibwa kyange kubanga ndi wabuvunanyizibwa mu Ggwanga lino, naye bwe bambuuza nga bampisaamu amaaso nange sijja kubawa kitiibwa”, Rukutana bwe yagambye.
Obuzibu bwonna bwavudde ku bakulira akakiiko okumubuuza butya Gavumenti bwe yatuuka okuwaayo ensimbi obuwumbi 24 mu obukadde 400 eri Dr. Muhamad Kasasa Buwule nga tebamaze kwetegereza oba ye nyini ttaka omutuufu eliweza yiika 640 e Mutungo, natandika okukalamuka nga bwayagala okusituka mu ntebe.
Era wano omulamuzi bamugemereire namutegeeza addemu bulungi ebibuuzo ebimubuzibwa kye yagaanyi era nabategeeza nti waddembe okuddamu obulungi singa baba bamubuzizza bulungi, naye era nabategeeza nti teyabadde mwetegefufu kuddamu bulungi singa babadde tebezeeko mu mbuuza yaabwe.
Munnamateeka Richard Lugendo agamba nti akakiiko konna bwe katekebwawo okugonjoola ensonga, abakatuulako tekitegeeza nti balina okwefuula bawaggulu nnyo, balina okuwuliriza buli ludda ate mu bwenkanya okusobola okufuna ekituufu.
Agamba nti abaakakiiko akakulirwa omulamuzi Bamugemereire naddala bannamateeka bakambwe nnyo, olumu ekiletera ababa bagenze okwekubira enduulu obutasengeka bulungi nsonga zaabwe, nagamba nti basaana batwale akadde beetegereze ensonga zonna bulungi oluvanyuma baveeyo n’okusalawo okulungi.
John Seremba Mutuuze we Mutungo, yalaze okutya singa abakungu ba Gavumenti omuli ne ba Minisita batandika okuyiza mu bukiiko amaaso obuba butereddwawo okugonjoola ensonga, kyagamba nti teri agenda kulwanirira munaku.
“Rukutana kye yakoze tekyansanyusizza nga omuntu kubanga yabadadde nnyo abakakiiko era naalaga nti tabalabawo, oluvanyuama nabagamba nga bwe bali ab’eddembe okumuwabira ewa Pulezidenti, ewa Paapa oba ewa Katonda, kino kyalaze nti talina gwayinza kuwuliriza kunsi kuno.” Seremba bwe yategezezza.
Ettaka lino likayanirwa Famire 3 okuli eya Ssekabaka Edward Muteesa, eya Bendicto Kiwanuka eyali Ssabaminisita wa Muteesa saako ne Dr. Muhamad Kasasa Buwule.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com