OLUKIIKO olwokuntikko olukulembera ekibiina kya NRM (CEC) lusazeewo awatali kwesalamu ne lukkiriza okulonda okwakamyufu mu kibiina kubeere kwa kusimba mu mugongo ku buli mutendera okufananako nga bwe kyali mu kulonda kwa LC esooka gye buvuddeko.
Pulezidenti Museveni era nga ye Ssentebe we kibiina kino mu ggwanga yoomu ku babadde basing okwagala enkola eno nga agamba nti eyanguya ebintu, tetwala sente nyingi, yamazima are era teyetabikamu buvuyo bungi.
Abadde akyogera lunye nti akalulu aka kamyufu akaggwa keetabikamu emivuyo mingi nga kyatuusa nabalonzi okwetamwa okulonda kwe kibiina.
Omwogezi we kibiina kya NRM Rogers Mulindwa yategezezza nti kino kyawedde okusalibwawo mu lukiiko olwatudde mu wooteri ya Chobe, era ne batekawo nakakiiko akagenda okwekeneenya ensonga eno, olwo kanjule alipoota obutasukka bbanga lya mwezi gumu.
Kano kagenda kukulirwa Omumyuka wa Ssentebe we kibiina Haji Moses Kigongo saako nomuwanika we kibiina Rose Namayanja Nsereko nga omuwandiisi waako, abalala abagenda okukatuulako mulimuSam Engola akikirira amabuka ge Ggwanga, Jim Muhwezi owabazirwanako, saako namyuka omuwanika we kibiina Dr. Keneth Omona.
Kinajjukirwa nti ekibiina kya NRM kyafuna emisango nokwemulugunya kungi okuva mu ba mmemba baakyo abaali beesimbyewo, era nga egisinga ku gyo gyabalemerera okugonjoola nokutuusa kati.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com