KU nkomerero ya wiki eno Gavumenti yagobye akulira kkampuni ya MTN mu Uganda ng’emulanga kwenyigira mu bikolwa bisekeeterera ggwanga.
Wim Vanhelleputte enzaalwa ya Belgium baabimusibidde ku nnyindo n’agoberera banne abaasooka okugobwa mu Uganda nga nabo kigambibwa nti baali beenyigidde mu bikolwa ebimenya amateeka, gavumenti by’etayinza kugumiikiriza.
Omukungu ono okumuzza ewaabwe abebyokwerinda baasoose kubaako bye bamubuuza ku nsonga ez’enjawulo omuli n’ezeekuusa ku byokwerinda, era kino olwawedde, minisita w’ensonga z’omunda Gen. Jeje Odongo n’assa omukono ku kiwandiiko ekimugoba mu Uganda n’atikkibwa ku nnyonyi ya KLM okumuzza ku butaka.
Ensonda zaategeezezza nti ekiseera kye yamaze nga tannassibwa ku nnyonyi, yakimaze aliko awantu w’aggaliddwa nga musibe era obudde bwe bwatuuse obw’okulinnya ennyonyi wano we yaggyiddwa n’atikkibwa n’azzibwa e Belgium.
Basoose okusoya bibuuzo ku byekuusa ku masimu agava ebweru agayitira mu MTN, era abeebyokwerinda baakizudde nti abakozi ba MTN abasatu abaasooka okugobwa bakyafuna ebyama bya MTN nga basinziira eyo gyebali.
Bano mu lukiiko lw’ebyempuliziganya olwabadde e Dubai gye buvuddeko beeyanjudde ng’abakyali abakozi ba MTN Uganda. Abebyokwerinda balumiriza nti abakozi ba MTN beeyingiza mu byobufuzi bwe baawagira Bobi Wine ne banne okwekalakaasa nga bawakanya omusolo ogwali guteekeddwa ku ‘Mobile Money’, era nti waliwo n’ensimbi ze baavujjiriranga abantu bano abeekalakaasi mu kyama.
Gavumenti era erumiriza nti abakozi ba MTN babadde beeyambisa ebifo byabwe okulumikanga amasimu g’abakungu mu ggwanga, ebyama bino ne babiweereza mu ggwanga erimu ery’omuliraano n’ekigendererwa eky’okusekeeterera Gavumenti eri mu buyinza.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yakakasizza nti omukungu wa MTN yazziddwaayo ewaabwe era bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza kwabwe okuzuula ebintu ebirala ku bantu bano abaagobeddwa mu Uganda. Ensonda mu byokwerinda zaategeezezza nti era mu kunoonyereza ku bantu bano baakizudde nga balina amawulire ge bazze basaasaanya ku bikwata ku kuttibwa kw’omugenzi Andrew Felix Kaweesi ng’oluusi balina be bagawa mu ngeri y’obubba.
Abakozi ba MTN abaasooka okugobwa kuliko Olivier Prentout enzaalwa ya Bufalansa, eyali akulira bakitunzi mu mtn, Elsa Muzzolinni eyali akulira ebya ‘Mobile Money’ mu MTN, wamu ne Tabuura enzaalwa ya Rwanda ng’ono yali avunaanyizibwa ku byakusaasaanya nkola ya MTN.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com