KYABAZINGA wa Busoga William Gabula Nadiope iv akunze abakulembeze mu kitundu kye Busoga bulijjo okufaayo buli kiseera okujjukizanga Gavumenti okubaddiza ebintu byabwe basobole okuddamu okubikozesa okwekulakulanya.
Agamba nti amakolero agaali gatambulira ku musingi gw’obwaKyabazinga, ettaka ne bizimbe ebitali mu mikono gyabwe singa babifunako obuvunanyizibwa ne baddamu okubyeddukanyiza obwa Kyabazinga mu bbanga ttono bujja kutinta.
Okwogera bino abadde ku kitebe ky’obwaKyabazinga ekisangibwa e Bugembe mu Disitulikiti ye Jinja, mu lukungaana olw’ategekeddwa abakulembeze mu kitundu kya Busoga, okusobola okusala amagezi butya bwe bagenda okukkulakulanya ekitundu kyabwe, saako n’okulaba ensonga ssemasonga 6 ze baabangawo gye buvuddeko okusobola okutwala ekintundu kyabwe mu maaso we zituuse.
Wakati mu lukungaana luno olubadde lukubirizibwa Katikkiro w’obwaKyabazinga Josehp Muvawala era nga lwetabiddwamu n’omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Rebecca Kadaga wamu n’ababaka bonna abakikirira ekitundu kya Busoga, Kyabazinga wano wasinzidde nabategeeza nga bwe balina okukola ennyo okulaba nga ekitundu kyabwe kiddamu okukulakulana nga bwe kyali edda.
Anokoddeyo ebimu ku bintu ebiyinza okubatwala mu maaso omuli amakolerero, gano ag’ogeddeko nti singa g’ongerwamu amaanyi abavubuka mu kitundu kino bajja kufuna emirimu beekulakulanye bawone obwavu okubasuza nga tebebase.
Eby’obulambuzi n’obuwangwa agambye nti bino Busoga elina bingi nga bwe biba by’ongeddwamu amaanyi bisobolera ddala okuyingiza ensimbi mu bwa Kyabazinga saako ne kitundu okutwaliza awamu.
Ebyenjigiriza n’obulimi nabyo aby’ogeddeko nga ogumu ku mukutu egigenda okuyamba Busoga edde ku mutindo.
Abajjukizza nate okutwala eky’okusomesa abaana abawala nga kikulu, baleme okubakomya mu bibiina eby’awansi kyagambye kiboononera ebiseera byabwe eby’omumaaso.
Sipiika wa Palimenti Rebecca Kadaga mu kw’ogera kwe asuubizza nga bwagenda okukola ekisoboka okulaba nga atuukirira omukulembeze we Ggwanga, okusobola okusala entotto butya Gavumenti bwegenda okuzza ebintu by’obwaKyabazinga bwa Busoga “Ebyaffe”.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com