ADDUMIRA Poliisi ye Kasangati mu Wakiso Jaffer Magyezi asanze akaseera akazibu abatuuze b’eLusanja ababadde abakambwe bwe bamututte entyagi, nga bamulanga okukulemberamu omugagga Medard Kiconco okubasengula ku ttaka lyabwe, ate bwe bafunye obuzibu bwa baana baabwe okugwa mu kinnya ne bafiirawo olwo najja okubasasira.
Bano bagamba nti Magyezi baali bagendangayo okumutegeeza ku mbeera ya Kiconco okubatulugunya, saako n’okubatiisa okumenya amayumba gaabwe, nga tafaayo nga ne ku lunaku Kiconco lwe yajja ne basajja be okubamenyera amayumba gaabwe Magyezi yeyakulembera okubawa obukuumi, nti ate babadde awo ne bamulaba nga ye muntu yoomu azze okubakubagiza olwe njega eyabaguddeko bwe baafiriddwa abaana baabwe 2 abaagudde mu kinnya kya mazzi ne bafa.
“Tumaze akabanga nga tubonaboona kyokka nga Magyezi buli kimu akimanyi kyokka n’omulundi n’ogumu tajjangayo kutubuuzaako, yadde okumanya butya bwe tuli, kati alaba tufiiriddwa abaana baffe olwo nga alyoka ajja okutukudalira, tukooye” bwe batyo bwe bategezezza nga bakambwe.
Bano bakeredde mu kyobeera oluvanyuma lw’okusanga abaana baabwe 2 ababadde bazanyira okumpi ne kinnya ekyali kyasimwa mu kifo we baakoona amayumba g’abatuuze ne bafiirawo mbulaga.
Kinajjukirwa nti mu mwezi gwe kkumi omwaka oguwedde omugagga Medard Kiconco nga ayambibwako ba kanyama ne Poliisi ye Kasangati baalumba ekyalo Lusanja ekisangibwa mu Town Council ye Kasangati ne bakoona amayumba g’abatuuze abawerako ne bagaleka ku ttaka.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com