ABASELIKALE abawerera ddala 6000 bebagenda okuwandikibwa mu Ggwanga nga omu ku kawefube agendereddwamu okw’ongera ku muwendo gwabwe okusobola okutambuza emirimu obulungi.
Kino kibikkuddwa Minisita omubeezi owe nsonga z’omunda mu ggwanga Obiga Mario Kania mu mboozi eyakafubo ne bannamawulire.
Minisita Kania agamba nti kino basazeewo bakikole oluvanyuma lwokuba nti ennaki zino emisango ne mirimu mu kitongole mingi ate nga abaselikale be balina batono kyagambye nti bakilabye nga kyakuyambako nnyo.
Anyonyodde nti abavubuka ennaku zino bangi basomye naye nga tebalina mirimu, kyagamba nti emirimu 6000 kati gibalindiridde abalina ebisanyizo bagenda kugifuna, wano nalabula abalina empisa embi naabo abalina emisango gya naggomola gye bazza nti tebatawaana kw’etantala kusaba mulimu mu Poliisi kubanga kuluno baagala bantu balamu ate nga bakozi
Ayongeddeko nti zo ensimbi ezigenda okubasobozesa okukola omulimu guno baazifunye dda, nga kati ssawa yonna bagenda kulangirira omulimu ddi bwe gunatandika.
“Omwaka guno twagala okulaba nga tuwandiika abaselikale ba Poliisi 10,000 mulamba naye katusookeko bano 6,000 oluvanyuma tujja kwongerako nga entekateeka bwegenda okuba” Obiga bwe yagambye.
Omulimu guno gusuubirwa okutandika omwezi ogujja.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com