OMULABIRIZI w’obulabirizi bwe Mukono Rt. Rev. James William Ssebaggala awabudde ba nnaUganda ku kabi akaboolekedde ssinga banaalemererwa okuzza obupya empisa n’enono ez’edda, n’abasaba okusitukiramu nga bbo okuvumirira n’okuyimiriza empaka z’obubina eziri mu nteekateeka ze yagambye nti zityoboola eddembe ly’abakyala.
Ssebaggala agamba nti ssinga enteekateeka eno etuukirizibwa, kagenda kuba kamu ku bubonero akalaga engeri obugwenyufu gye busensedde eggwanga ekigenda okuviirako abantu naddala abakyala abakulu okunaaba ensonyi mu maaso olwo batandikire ddala okwambala engoye za bawala baabwe, ate abalala batandike okukunnumba obute.
Ono okwogera bino, yasinzidde Ku lutikko e Mukono bwe yabadde atuuza ba canon abasatu okwabadde Rev, canon David Musa Ssebuliba ow’obusumba bw’e Namagabi e Kayunga,Rev Canon David Mpagi ng’ono ye saabadinkoni w’e Seeta ne Enos kitto Kagodo ow’obulabirizi bwe Mukono.
“Abamu Ku bbo kati tebakyagitwalanga nga nsonga okwambala mu ngeri etasaanidde olw’okukoppa enyambala y’abazungu, abasinga okukola ebintu eby’obugwenyufu ebingi nyo awatali kubikkirira, era tetusaanidde kubakoppa, Ky’ova olaba nabaana baabwe abamu babalemerera okukuza obulungi ne bafuuka ba kyewaggula nga bakyali bato olw’ebifaananyi bye bakula balaba okuva eri bazadde baabwe” Ssebaggala bwe yagambye.
Yabasabye okutambulira ku nsonga empaandiike mu kitabo ekitukuvu egamba nti empisa bw’ebeera ennungi bagikoppe era bagyeyambise mu bulungi,beewale okukoppa ebikyamu ebiyinza okuboolekeza mu kuzikirira kyokka ng’ ekikwasa enyiike kye ky’okuba nti ate bbo, ebikyamu bye bakoppa,ne baleka ebiyinza okubatuusa ku nkulakulana gye beetaaga.
Ssebaggala nate, yayongeddeko nga bannauganda bwe batunuulidde enyo eby’enfuna nga tebafudeeyo ku ngeri gye bafunyeemu nsimbi ezo ekintu eky’obulabe gye bali.
“Abavubuka ensangi zino baagadde nyo ensimbi okusinga obulamu bwabwe n’obwabantu abalala.,ky’ova olaba battingana enkya n’eggulo abamu ne batuuka okusanjaga amabugye ssinga wabaayo abasuubizza ensimbi ate Oluusi nga ziba ntono nyo, ne beerabira nti ssinga bakwatibwa,baba beeyonoonedde ebiseera byabwe byonna eby’omumaaso naddala ssinga basibwa amayisa.”ssebaggala bwe yagambye.
Wano weyasabidde ba nnadiini bonna ab’enzikiriza ez’enjawulo okusitukiramu okusabira eggwanga omukama asobole okulibeera olw’ebigenda mu maaso ebitayoleka Kitiibwa kya Katonda, n’okumusaba ataase ensi eri omulabe sitaani agisensedde.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com