TUKULETEDDE munnamaggye, munnansiko Lt. Gen. Proscovia Nalweyiso omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni gwe yakuzizza okuva ku ddaala lya Major General mu maggye ku nkomerero ya wiiki eno.
Ono Musomesa omutendeke naye nga olutalo bwe lwatandika olwaleeta Gavumenti eno mu buyinza ennoni yagisuula nasalawo okwegatta ku maggye g’abayekera ekiseera ekyo era kati yoomu ku Bakyala abasinga amayinja agaamaanyi mu maggye ga UPDF era nga ne mukamaawe Museveni amwesiga nnyo.
Kino kirabikira mu mirimu enkuyanja gyatera okumutuma naddala mu bantu abalina ebizibu n’abigonjoola ku lulwe, era abasinga bwe bamulaba babanga abalabye Pulezidenti olw’amaanyi gaayogeza bwatyo n’okukola.
Yazaliibwa mu mwaka gwa 1954 mu Disitulikiti ye Mpigi era nga yakulira mu maka g’abaana 20, oluvanyuma abantu be baasenguka ne bagenda e Ntenjeru Mukono.
Mu mwaka gwa 1979 yatandika emirimu gye egy’obusomesa saako n’okuba omuwandiisi mu kkanisa ye Gombe mu Disitulikiti ye Mpingi nga eyo gye yatandikira okuwulira omuzimu gw’ebyobufuzi mu mutwe gwe.
Mu kiseera ekyo yeegatta ku kibiina kya DP era naalondebwa okuba Ssabawandiisi we kibiina mu mwaka 1980 mu kulonda okwaliwo, era ekibiina kya UPC ne kiwangula, ye ne banne okulonda okwo bakutwala nti kwali kwa manchoolo nga baawakanya nti obote tawangudde Ssemogerere, nti wabula lwali lugezigezi lwa UPC kukomyawo Obote mu buyinza.
Agamba nti UPC bwe yawangula abantu baayo ne batandika okukola obulabe ku abo abaali batabawagira n’abamu battibwa mu kiseera ekyo.
Wano yeegatta ku Ggye lya National Resistance Army NRA MU 1982 oluvanyuma lw’okukizuula nti lye lyali ekkubo lyokka okusobola okwetakkuluzaako obukulembeze obwaliwo saako n’okununula eGgwanga Uganda.
Mu 1983 nga bali mu nsiko baatondawo ekibinja kya bakyala era Nalweyiso naalondebwa okukikulira, era yakola nnyo okusikiriza abakyala okuyingira mu buyekera ekiseera ekyo, mu kitundu kye Luwero.
Eggye lya NRA bwe lyakwata obuyinza Nalweyiso yaweebwa ekitiibwa ekya Captain, era naalondebwa okukulira ekibinja kya bakyala mu maggye, oluvanyuma yakuzibwa natuuka ku ddaala lya Major, ne bamwogera erya lt. Colonel okutuusa mu mwaka gwa 2000 bwe yakuzibwa okufuuka Colonel omujjuvu, era oluvanyuma n’afuuka Brigadier.
Mu 2017 yakuzibwa okutuuka ku ddaala lya Major General.
Okumala emya 15 abadde akola mu maka g’obwaPulezidenti nga omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’amaggye era nga Museveni amwesiga nnyo.
Alina abaana 4.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com