Omubaka wa Kyadondo East mu Palimenti Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) abakanye ne ddimu ly’okuddamu okuzimba amayumba g’abantu b’okukyalo Lusanja ekisangibwa mu Town council ye Kasangati mu Wakiso, agayononebwa omugagga Medard Kiconco nga agamba nti abatuuze baali baazimba ku ttaka lye.
Ono awerekeddwa babaka banne okuli Ibrahim Kasozi owa Makindye East abatonedde amabaato 100, Francis Zaake Butebi owa Munisipaari ye Mityana abawadde akakadde ke nsimbi ne Latiff Ssebaggala owa Makindye abasuubizza ensawo za seminti 30, byonna bibayambeko okusobola okuddamu okuzimba amayumba gaabwe.
Omubaka Kyagulanyi agambye nti tebagenda kulinda muntu mulala kubakolera mulimu guno, nagamba nti kye balina ekitono kye bajja okukozesa okulaba nga bazzaawo ennyuma z’abatuuze abali mu mbeera embi ennaku zino.
Anyonyodde nti abantu b’eLusanja buli muntu yabasasira bwe baafuna obuzibu nti naye teri yakomawo kubayambako nga kati babadde boolekedde okufa olw’endwadde eziboolekedde ezekuusa ku bukyafu.
Yeyamye okukunga ab’emikwano abalala nabo bajje bayambeko ku mulimu guno, gwagambye nti gulina okuggwa omwaka guno.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com