ABAVUBI ku myalo egy’enjawulo mu Ggombolola y’e Ntenjeru e Mukono batandise okuganyulwa mu nkola ey’okuwummuza ennyanja gye baatandika gye buvuddeko n’ekigendererwa ky’okumalawo envuba embi okusobola okufuna byannyanja bikulu ebivaamu ensimbi ezeegasa.
Enkola eno yatandikira ku myalo omuli ogw’e Kijjuko n’ogw’e Kalittunsi mu muluka gw’e Bunakijja, Ggombolola ye Ntenjeru ku nnyanja Nalubaale ng’abavubi baasalawo okuyimiriza emirimu gy’okuvuba buli lunaku ne
bakkaanya ku ky’okuvubanga olunaku lumu lwokka buli mwezi, kye bagamba nti kiyambako ennyanja okuwumula ne byennyanja okuzaala saako n’okukula, olwo ne babivuba nga bikuze bulungi ne bivaamu ne nsimbi ezeegasa.
Ssentebe w’abavubi ku mwalo gw’e Kalitunsi, Haruna Lukomwa yategeezezza nti kino baakitandika oluvannyuma lw’okukizuula nti baali bafiirwa ensimbi nnyingi ze bateekanga mu mafuta ag’akozesebwanga mu yingini z’amaato kyokka ne batafunamu, nga kino mu ngeri endala kyali kyogendde okuwaliririza abavubi abamu okukemebwa ne benyigira mu nvuba enkyamu nga bavuba obwennyanja obuto.
Nnannyini ttaka okuli omwalo gw’e Kalittunsi, Fred Kabuye era nga ono mukugu mu by’envuba
yagambye nti, enkola y’okuwummuza omwalo yasooka kulwanyisibwa bavubi bennyini nti naye kati batandise okujagala mpola mpola kubanga kati bafunamu ensimbi mpitirivu.
Yasabye Gavumenti nayo eyongere amaanyi mu nkola y’okuwummuza ennyanja kyongere okuwa omukisa ebyennyanja ebito okukula obulungi ne Ggwanga okufuna omusolo ogutegerekeka okuva mu byennyanja.
Yalabudde nti singa abakulembeze tebavaayo ne bawagira nkola eno ku myalo egy’enjawulo, ennyanja egenda kufuuka kidiba omutali yadde kyannyanja kyonna, kyongere okussa eby’enfuna mu bavubi ne Ggwanga okutwalira awamu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com