GAVUMENTI egenda kuleeta ebbago mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu eligendereddwamu okulambika abasawo b’ekinansi wakati mu kukola omulimu gwabwe.
Ebbago lino limaze akabanga nga litekebwateekebwa oluvanyuma lwa Minisita akwasiza empisa n’obuntubulamu Father Simon Lokodo okuvaayo naalaga okw’emulugunya kwa bantu ku basawo be kinnansi ababakolako ebikolobero, omuli okubakaka omukwano, okubabbako ensimbi mu lukujjukujju ne bilala bingi.
Okusinziira engeri gye bateseteesemu ebbago amateeka gonna gagenda kuba bwe gati.
Wajja kuteekebwawo akakiiko ka Gavumenti nga katuulako abantu musanvu akaweereddwa obuyinza okulondoola n’okukuuma omutindo gw’abasawo b’ekinnansi.
Ku kakiiko kano kujja kutuulangako abakiise ababiri abakiikirira abajjanjabisa eddagala ly’ekinnansi, abakiikirira abajjanjabisa enkola y’obutakozesa ddagala, omukiise w’ekitongole kye Ggwanga eky’eddagala, omukiise wa minisitule y’ebyobulamu, n’omukiise ava mu kitongole ekinoonyereza ku ddagala ly’ekinnansi.
Akakiiko kano ke kanaagabira abasawo b’ekinnansi abanaaba basunsuddwa, ebbaluwa ezibawa olukusa okukola omulimu ogwo. Omusawo okuweebwa ebbaluwa olina okubeera n’obuyigirize ng’ebyokusomwa bijja kusalwawo akakiiko k’abakugu akateereddwaawo nga beebuuza ku minisita w’ebyobulamu.
Omuntu yenna okujjanjabisa eddagala ly’ekinnansi alina okuba ng’amaze kutendekebwa. Ebbaluwa zijja kuweebwanga abamaze okutendekebwa era nga beewandiisizza.
Omujjanjabi alina okwawula obulungi ekintu kye yakugukamu ne by’akozesa okumanyira ddala oba akozesa ddagala lya kinnansi oba ayita mu nkola ndala.
Akakiiko kajja kufulumyanga olukalala lw’abasawo abasunsuddwa buli mwaka, era bajja kwekenneenya emirimu gy’abasawo okusunsulamu abafere n’abanyaga abantu buli mwaka.
Abasawo balina okulambulwanga mu bifo gye bakolera n’ebifo gye bakolera. Omukugu atuula ku kakiiko ka Gavumenti alina obukugu y’ajja okulambulanga.
Atunda eddagala ly’ekinnansi takkirizibwa kweranga okuggyako nga ky’alanga kimaze okukkirizibwa akakiiko ka Gavumenti akabafuga. Okweranga mulimu okutimba ebipande, okufulumya ekiwandiiko oba okukozesa okweranga kwonna okwedoboozi, ekitangaala oba ekivuga okutegeeza abalwadde.
Omusawo ajja kubeera wa ddembe okujjanjabisa eddagala ly’ekinnansi n’Eryekizungu singa lyonna abeera ng’alirinamu obukugu.
Tewali kuddamu kukozesa mannya g’abasawo ba Kizungu nga dokita ne nnansi nga tewabisomerera mu Kizungu kubanga kyazuuliddwa nga kino kibuzaabuza omulwadde nga tamanyi musawo gy’agwa.
Omuntu yenna okutabula eddagala mu bugenderevu oba mu butanwa mu ngeri yonna ng’eyonoona omutindo gw’eddagala bajja kuweebwa ebibonerezo ebikakali.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com