MU kiro ekikesezza olw’okuna ab’ebyokwerinda baanzinzeeko amaka ga munnamawulire Solomon Serwanja ne batamusangayo, ate bwe bukedde ku makya ne baddayo ne bakwata Mukyala we Vivian Nakaliika Serwanja natwalibwa ku Poliisi ya CPS mu Kampala.
Era bano bagenze mu maaso ne bakwata Bannamawulire abalala 3 okuli Kassim Muhamad, Rashid Kaweesa ne Godfrey Badebye nga bano bakolera ekitongole ky’amawulire ekya BBC era nabo batwaliddwa ku CPS.
Akulira ekitongole ekilwanirira eddembe ly’aBananamawulire mu Ggwanga ekya Human Rights Network for Journalists Uganda (HRNJ) Robert Sempala akakasizza okukwatibwa kwa bannamawulire bano era nagamba nti ayogeddeko n’omuddumizi wa Poliisi mu Kampala ne miriraano Moses Kafeero namutegeeza nti babalina naye ebintu biwanvu.
Ensonda zitegezezza nti bano bandiba nga okukwatibwa kiddiridde okuba nti babadde baliko emboozi empanvu gye babade banonyerezaako, eyekuusa ku nsonga ze ddagala mu malwaliro ga Gavumenti.
Wabula Ssempala ategezezza nti tebanamanya kika kya misango gye babagguddeko, eranga bamaze okuyungula ekibinja kya bannamateeka ekikulembeddwamu Hon Medard Lubega Seggona okulaba nga batasibwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com