Ayogerera ekitongole kya Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, ategezezza nti, ba mbega baabwe bagezezaako okutuukirira Kusassira okukola siteetimenti ku musango gwe yawaaba kyokka ng’abeebalama.
Bagamba nti kino kireetedde okunoonyereza ku fayiro yabwe okutambula akasoobo.
Enanga ayongeddeko nti, tebajja kupondooka okutuusa nga bamaze okujja siteetimenti ku Kusaasira wamu n’abajulizibe abaaliwo nga Gen. Ggwanga akuba emmotoka ye ey’ekika kya Toyota Premio namba UAY 083Y, amasasi.
Ensonda zigamba nti, newankubadde nga yali yatwala omusango ku Poliisi y’e Katwe, Kusaasira yandiba nga si mwetegefu kwesimba mu Gen. Ggwanga era nga n’emmotokaye, mwetegefu okugyekanikira nga tamugyeeko yadde ekikumi.
“Tusaba oyo yenna eyaliwo nga bino byonna bigwaawo ajje atubuulire oba atuwe obujulizi butuyambe mu kunoonyereza kwaffe,” Enanga bwe yagambye
Enanga ayongerako nti, ssinga Kusaasira avaayo n’abategeeza nti si mwetegefu kugenda mu maaso na musango, bo nga Poliisi baakugenda ewa ssaabawaabi wa Gavumenti (DPP) abawabule oba basobola okugenda mu maaso ne fayiro y’omusango awatali siteetimenti ya muwaabi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com