Omubaka Solomon Sirwanyi amyuka Ssentebe w,akabondo kano mu Palimenti ategezezza nti mukama waabwe Pulezidenti yagenda okukubiriza olukiiko luno yenyini, era nga ezimu ku nsonga ezigenda okutesebwako mulimu entekateeka y’okulonda kwe kibiina eyayanjulwa Ssabawandiisi waabwe Justine Kasule Lumumba wiiki ewedde.
Agamba nti era basuubira okuteesa ku mbeera eliwo mu Palimenti eyatusizza ne Sipiika Rebecca Kadaga okugaana okukakasa ba Komisona ba Palimenti abaalondeddwa ekibiina kya NRM.
NRM yali elonze omubaka wa Usuk Peter Ogwang, Omubaka omukyala ow’eKakumiro Robinah Nabanja n’omubaka w’abakozi mu Palimenti Arinaitwe Rwakajara.
Wabula bbo ababaka abagaana okuwagira ekiteeso eky’okujja ekkomo ku myaka gy’omukulembeze we Ggwanga tebayitiddwa mu lukiiko luno.
Patrick Nsamba owe Kasanda North yakakasizza bino nti tanafuna bbaluwa yonna yadde obubaka obuyita okwetaba mu lukiiko luno, nagamba nti era tabadde wakugendayo kubanga banne abagenda agamba nti bagenda kukima bilagiro kuva wa mukulembeze wa Ggwanga sso ssi kuteesa nga bwe bagamba.
Ye Omubaka James Waluswaka owa Bunyole East yategezezza nti ekiteeso kye nkola y’okusimba mu mugongo nga balonda mu kamyufu k’ekibiina kyabwe nayo yakubeera ku mwanjo nnyo wakati mu kuteesa era nagamba nti ye kennyini yagenda okusosotola ekiteeso kino, ate nga kyamanyi banne bajja kukiwagira.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com