ABATUUZE abasoba mu 800 ku kyalo Kitovu ekisangibwa mu gombolola ye Mafubira mu Disitulikiti ye Jinja basattira oluvanyuma lwa ssentebe wa NRM owe ggombolola ye Budondo mu disitulikiti eno Daudi Musenze okubatundira mu ttaka kwe bagamba nti bamazeeko ekiseera ekiwera.
Bano era balumiriza nti ono yekobaana n’eyaliko Ssentebe w’ekyalo kyabwe Alex Kakaire nabalala.
Bategezezza nti abamu ku banaabwe basibiddwa mumakkomera nga akozesa poliisi enkulu e Jinja, awatali kubawuliriza yadde.
Bino babiropedde ssentebe wa LC 3 Thoams Batenganya mu lukiiko lw’ebyokwerinda olutegekeddwa ku kyaalo kino wakati mu kusala amagezi kungeri gye bayinza okuyambibwa oluvanyuma lwe kibinja kya agambibwa okuba nnyini ttaka lino okubakuba nokubatiisatiisa nga bwajja okubasiba saako n’okubatta.
Bategezeza nti badukidde ku poliisi ezenjawulo, ew’omubaka wa Pulezidenti nabalala kyokka nga mpaawo noomu abayamba.
Balajanidde omukulembeze we ggwanga n’akulira akakiiko ke ttaka akakulemberwa omulamuzi Catherine bamugemeire okuyingira mu nsonga eno.
Ettaka lino litudde ku yiika 120 nga kigambibwa nti lya Joshua Muddu Awulira nga ono yategezeza nti ettaka lilye nti era alina n’ebiwandiko byaalyo.
Ye ssentebe ayogerwako Daudi Musenze asambazze ebimwogerwako nategeeza nti abagamba nti ettaka lyabwe bagende mu mbuga z’amateeka bamuwawabire kuba obukakafu abaulina obulaga nti ettaka lilye bwooya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com