ABAKULIRA akakiiko ka Palimenti akavunanyizibwa ku nguudo ne bizimbe, bayise abakungu mu kitongole kye by’enguudo ekya UNRA, banyonyole ku ngeri gye baakolamu omulimu gw’okuzimba olutindo ku mugga Kiyira gadibe ngalye.
Olutindo luno lwawementa obuwumbi bwe nsimbi z’aUganda 390 ate nga ebitundu 80 ku 100 eky’ensimbi zino zaali za bbanja okuva mu Gavumenti ya Japan, era Pulezidenti Museveni naalutongoza omwaka oguwedde.
Wabula nga tewanayita yadde omwaka olutindo luno nga lugguddwawo lwatandise okulabika nga ganyegenya era nga lwonna lutandise okubambuka saako n’okujjamu enjatika ezamaanyi.
Kino aba UNRA bagamba nti si kituufu era baakiyise kuddabiriza okwabulijjo kwe bakola ne ku nguudo endala, ababaka kye batanategera.
Omubaka Kafeero Ssekitooleko, nga ye Ssentebe w’akakiiko kano yategezezza nti kye baagala kwe kubuuza abakungu ba UNRA n’abekikugu baabwe babanyonyole obuzibu buva wa?
“Tubadde tubisomako mu mawulire kati twagala okuwulira eddoboozi okuva gye bali, era batubulire ekyatuuka ku lutindo lwe Ggwanga” Kafeero bwe yagambye.
Omubaka Luttamaguzi Ssemakula owe Nakaseke South yagambye nti abakwata omulimu gw’okuzimba olutindo luno bajja kuswazibwa singa bakizuula nti omutindo gwe baakozesa gwali gwa kiboggwe.
Wabula bbo aba UNRA bakyakalambidde nga bagamba nti olutindo olupya luli mu mbeera nnungi okumala emyaka 100 nga bwe baasubiza nga balukwasa bannaUganda.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com