“Nawogganye okuyita Namusisi, era kye nasembyeyo okuwulira nga angamba nti agezaako kutaasa baana be awo we nakomye okumuwuliza okutuusa bwe bajjeyo omulambo” Nakakande bwe yategezezza.
Omukubiriza w’olukiiko lwa Disitulikiti ye Mukono Emannuel Mbonye nga naye mutuuze ku kyalo kino yagambye nti guno omulundi gw’akubiri nga abatamanya ngamba bookya abantu ku kitundu kino, nagamba nti ogw’asooka, baayokera abaana 2 mu ssabo elisangibwa ku kyalo kye kimu mu mwaka gwa 2013.
Omuddumizi wa Poliisi ye Mukono Rogers Seguya yakakasizza okufa kwa bantu bano nagamba nti okunonyereza abaakoze kino kugenda mu maaso.
Emirambo gy’abagenzi gy’atwaliddwa mu ddwaliro e Kawolo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com