OMUKUBIRIZA w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Rebecca Alitwala Kadaga avudde mu mbeera naatumya Minisita w’ebyenjigiriza Janet Kataha Museveni alabikeko mu maaso g’ababaka anyonyole ensonga lwaki ebisale by’amassomero ga Gavumenti byeyongedde okwekanama.
Kadaga okusalawo kino kiddiridde Omubaka wa maserengeta ga Mukono mu Palimenti Johnson Muyanja Senyonga ku lw’okuna okutegeeza Babaka banne nga ekiteeso ky’ebisale mu massomero ga Gavumenti bwe kitagonjoolwa bulungi, nga ky’etagisa Minisita w’ebyenjigiriza okulabikako anyonyole kubanga olusoma olusooka lutuuse ate ebisale by’eyongedde okwekanama.
“Oluwummula luweddeko, naye mukadde waffe Minisita talabikangako kutereeza nsonga y’abisale, kino kituletedde okutya kubanga amassomero ga Gavumenti gongeza ensimbi buli kadde” Muyanja bwe yategezezza.
Kadaga yagambye nti ekiteeso kino kimaze ebbanga lya myezi 3 ku mpapula okubeera ebiteeso, nagamba nti ku lw’okubiri lwa wiiki ejja Minisita alina okujja anyonyole.
Ye Omubaka wa Kilak Gilbert Olanya yagambye nti mu Disitulikiti ye Gulu abayizi baawereddwa empapula okuli eby’etaago nga zilaga nti abayizi bagenda kusasulanga emitwalo 520,000 songa omwaka ogwaggwa basasula 300,000, kye yagambye amassomero gano gakana abazadde ensimbi mpitirivu nga kyetagisa okubaawo ekikolebwa.
Omwaka oguwedde akakiiko k’ebyenjigiriza n’emizanyo kaawuliriza ensonga z’okukyuka kyuka mu bisale eri amassomero ga Gavumenti, era ne kasubiza okutuusa ensonga zino mu lukiiko lw Ggwanga olukulu zisalwewo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com