OMUYIMBI Geoffrey Lutaaya y’omu ku baatuula ebigezo bya S4 eby’afulumiziddwa eggulo.
Yayitidde mu ddaala lyakuna(Div 4). Yasomedde mu nteekateeka y’abantu abakulu nga kati yayise okusoma siniya eyookutaano (S5) ne S6.
Mu nteekateeka eno ebibiina byombi ajja kubisoma mu mwaka gumu.
Ebigezo yabituulidde ku ssomero ly’abakulu erya Makerere Day and Evening Adult School elisangibwa ku luguudo Sir Apollo mu Kampala.
Yasomye amasomo munaana mwe yaggye obubonero 62. Olungereza 7, Ebyeddiini (CRE) 8, History 9, Geography 9, Oluganda 5, Okubala (Math) 9, Biology 6, Commerce 9.
Essomero likulirwa Rev. Edson Nyanzi eyategeezezza nti tebakkirizibwa kwogera bayizi baabwe bwe baasomye nga tebafunye lukusa kuva eri bbo.
Yagasseeko nti wabula Lutaaya abasanyusizza okuyita kubanga abadde n’obudde butono obugenda mu kibiina. Ebiseera ebisinga abadde asomera waka e Munyonyo ne ku wooteeri ye eya Durban e Najjanankumbi.
Gavumenti yateekawo enkola esobozesa abantu abakulu abatafuna mukisa gw’akusoma, nga basobola okuddayo buli omu natandikira we yakoma neyeyongerayo.
Enkola eno eri mu massomero g’alubatu kubanga abantu abasoma obukulu batono, ate tebatera kuba n’abudde busoma mu bibiina ebbanga eddene, era bano ebibiina ebimu babigatta.
Kati kitegeeza nti 2021 Lutaaya bwanaaba amalirizza S.6 omwaka ogujja agenda kuba nga asobola okw’esimbawo ku Bubaka bwa Palimenti ewabwe e Kakuuto mu Disitulikiti ye Kyotera akiikirire abantu baayo.
Ono yatandika dda okunoonya akalulu era nga Mukyala we Irene Namatovu akyogera lunye nti kuluno Omwami we alina okuyingira olukiiko lwe Ggwanga olukulu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com