ABAMU ku Babaka saako naabo abatekateeka okwesimbawo ku kaadi ye kibiina ekiri mu buyinza ekya NRM batandise okugula ekiteeso eky’okulonda nga basimba mu mugongo, kye bagamba nti kiyinza okuyambako mu kukendeeza ku mivuyo egy’etobeka mu kulonda akamyufu kaabwe.
Omubaka akiikirira amaserengeta g’aMukono Johnson Muyanja Ssenyonga agamba nti enkola y’okusimba mu mugongo nungi kuba elaga obwerufu mu kulonda, nti era engeri gye bagigezaako mu kulonda kw’obukiiko bwa LC esooka bakizuula nti buli muntu yavangawo nga amatidde ne byava mu kkulonda.
Agamba nti naye mu kulonda okwaggwa obupapula obw’akozesebwa bwali bwangu nnyo okukolamu ebicupuli kubanga ekisooka tekwali bifananyi by’abesimbyewo, nga n’abagezigezi baafuna empapula n’ebyuma ebikuba obululu ne beekolera ebyabwe,ekyaleetawo emivuyo n’obutakkaanya ouyitirivu.
“Bwe wabaawo okutegeka okulungi emivuyo saako n’emisango giba mitono, nekilala abantu okukayana kuba kutono kubanga buli muntu aba amatidde bulungi” Muyanja bwe yagambye.
Ate Munamateeka Keneth Nsubuga Ssebagayunga nga ono yeesimbawo mu kamyufu k’ekibiina kya NRM mu mambuka g’aMukono, agamba nti ekibiina kye kilina okukola okusooka kwe kutereeza enkalala z’abalonzi saako n’obwammemba mu kibiina, nti kuba ogenda okwesanga olw’okuba nti buli eyesimbyewo aba ayagala kkaadi kiviirako abamu okuwandiisa n’abatali bannakibiina era neebetaba mu kulonda.
“Twetaaga okusooka okw’etegereza bannakibiina abatuufu benyini bawandikibwe kubanga abantu bonna aba NRM mu bitundu gye bali beemanyi bulungi, nga kati ekyetaaga okukolebwa kwe kubategeka basobole okwetaba mu kalulu nga tewali kutataganyizibwa” Nsubuga bwe yategezezza.
Yayongeddeko nti ye talina mutawaana ku nkola yakulonda oba kusimba mu mugongo oba kukozesa bupapula wabula kyasinga okuteekako essira kwe kutereeza owa mmemba bwa bannakibiina saako nenkalala z’abalonzi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com