MAJOR Gen. Wasswa Kasirye Ggwanga ayanukudde ku mbeera eyabaddewo ekiro eky’akesezza olw’okusatu mu kitundu kya madirisa Zone e Makindye, Omuyimbi Catherine Kusasira wagamba nti yajjeeyo emmundu
n’akuba amasasi emipiira gye mmotoka ye.
“Banange kuluno bagamba mbu nze njiikiriza naye Omuwala oyo mujoozi nnyo era nabadde simanyi nti ndimusisinkana olunaku olumu. Kati kambabulire ekituufu eky’abaddewo, wayiseewo emyezi nga 3 emabega nali ndi wange mu kiro ne wabaawo omukyala eyankubira essimu nampita nti “HONEY” ne neebuuza ani oyo ampita mu ngeri efananako bwetyo, okwali okuddamu okumubuuza ani oyo ngenda okuwulira nga agamba nti “YOGERA NOOYO” olw’okuba enkola yange ku ssimu eri nti omuntu wankubira nsooka kumugamba nti Nze Gen. Kasirye Ggwanga obadde ogambaki? n’omuntu eyampeebwa ku ssimu yangamba nti sebo nsonyiwa naye
omukyala ono tubadde tumukutte nga avuga atamidde ekiro, naye katumute.Mu bwongo bwange nasigala neebuuza ani oyo akozesezza elinnya lyange, era natwala omutawaana okunoonya ani eyakozesa elinnya lyange okusobola okuvvunuka omusango, oluvanyuma ne nkizuula nti yali Omuyimbi Catherine Kusasira.
Nga nzize ku byabaddewo ekiro ekyakesezza olw’okusatu, nabadde nina wendi mu kitundu kya Madirisa zone e Makindye nagenze okuwulira akavuyo ebweru okumpi ne mmotoka yange, nagenze okwetegereza nga waliwo abantu abayomba ne Ddereva wange, nage kwe kugenda ndabe ogubadde.
Nagenze okutuukawo nga ndaba abantu ababadde bawogganya endongo mu mmotoka yaabwe ate nga balekanira waggulu nti weeyitaki gwe.
Bwe nababuzizza ogubadde kwe kufubutukayo omukazi omunene ate nze gwe nabadde simanyi era nga simulabangako naneyanjulira nti ye Catherine Kusasira, ne mubuuza nti ssi yegwe eyakozesa elinnya lyange abaselikale bwe bakukwata nga otamidde? nabadde nkyamuwuliriza kwe kutandika okungamba nti mweeyita ki, ne ngenda mu maaso n’okumugamba agambe ku banne bakendeeze mu kidongo naagaana nga bwayongera okumbuuza kye neeyita.
Naye ekyasinze okunnuma kwe kugamba mbu agenda kumpawabira w’omukulembeze we Ggwanga, awo ne neebuuza nti kyava ajooga abantu lwakuba atuuka ewa Pulezidenti?
Nange kwe kujjayo omuggo gwange okubakkakkanya era nakitegedde nti emipiira tejawoonye.” Ggwanga bwe yategezezza.
Yawadde Kusasira amagezi okukomya okujooga abantu olw’okuba ayogera n’omukulembeze, nagamba nti akimanye nti ssi yasoose kuba bangi aboogera naye songa tebakola ffujjo ku bantu banaabwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com