Ebyava mu bigezo bya siniya 4 bimaze okutekebwa teekebwa, era kikakasiddwa nti bifulumizibwa lwakuna luno nga 31.01.2019.
Olwaleero Ssabawandiisi w’ekitongole kye by’enjigiriza Alex Kakooza ategezezza nti byonna biwedde nga ekisigalidde kwe kubikwasa Minisita avunanyizibwa ku by’enjigiriza ku ssawa 8:30 wali ku UBOS Confrence Hall.
Kakooza agambye nti abayizi 99,672 be baatuula ebigezo bino mu mwezi gwe kkumi n’ogumu n’ogwekkumi n’ebiiri, nga kubo abayizi 53,359 baali balenzi ate 41,313 baali baana bawala mu bifo 2,217 mwe babituulira.
“Kati ekisigalidde kwe kubifulumya mu butongole abazadde bamanye abaana baabwe bwe baakola” Kakooza bwe yategezezza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com