KAMISONA mu Minisitule y’ebyenjigiriza avunanyizibwa ku matendekero ag’eby’emikono Sarah Namuli Tamale, asabye abazadde mu ggwanga lyonna abalina abaana mu massomero, okuvaayo bayambeko ku basomesa mu bintu bintu ebimu kye yagambye nti kigenda kw’ongera okusitula omutindo gw’ebyenjigiriza mu massomero ga Gavumenti.
Tamale agamba nti singa abazadde batwala obuvunanyizibwa n’ebayigiriza abaana baabwe ebintu nga empisa n’obuntu bulamu, okw’ewa ekitiibwa nga bakyali bato, okw’ogera obulungi mu bantu n’ebilala, awo n’abasomesa bajja kuba banguyirwa eddimu ly’okubassamu omutima ogusoma obulungi era bayitire waggulu.
Bino yaby’ogeredde ku ssomero lya KAMDA Secondary mu gombolola ye Mpatta e Mukono, abaana b’amassomero kw’ebakulizza olunaku lw’ekitiibwa ky’omwana w’Africa, olumanyiddwanga Global Diginity Day, olw’atandikibwawo ab’ekitongole kya Next Generation Schools, n’ekigendererwa eky’okusomesa abaana b’amassomero saako n’abasomesa bamanye obukulu obuli mu kw’ewa ekitiibwa.
Yagambye nti ennaku zino abazadde eddimu ly’okutendeka abaana balilekera basomesa bokka mu massomero gy’ebatwala abaana baabwe, n’agamba ekyo tekimala nti kubanga ky’etaaga nabo okumanya nti balina obuvunanyizibwa okukuza abaana nga bampisa ate nga beewa ekitiibwa, nga ekiba kisigalidde b’ebasomesa kubateekamu obwongo bw’ebiyigirizibwa mu massomero, balyoke bafuuke abantu ab’obuvunanyizibwa mu ggwanga nga bamaze okusoma.
Ye akulira ekitongole kya Next Generation Schools mu ggwanga Aisha Najjuuko yagambye nti enkola y’okusomesa abaana n’abasomesa okwewa ekitiibwa bagitandikawo oluvanyuma lw’okulaba nga abamu ku basomesa baggwamu ensa n’ebatuuka n’okuganza abayizi b’ebasomesa, ate n’abayizi nabo nga tebakyawa basomesa kitiibwa ekiviirako omuwendo gw’abayizi abawanduka mu massomero okw’eyongera mu ggwanga.
Yanyonyodde nti enkola eno bagitandikira mu massomero agali mu disitulikiti 3 okuli eye Mukono, Wakiso ne Nakaseke emyaka 3 emabega, era nga bagenda kujongerayo okubuna amassomero gonna mu ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com