OMUBAKA akiikirira amaserengeta ga Nakaseke mu Palimenti Paulo Luttamaguzi Ssemakula alabudde abavubuka mu kitundu ky’akiikirira okukomya omuze gw’obwanamunafu, kyagamba nti kye kivuddeko omuze gw’obubbi ogukyaase ennyo mu kitundu kino.
Luttamaguzi agamba nti bano tebakoma ku kubba kwokka, wabula n’emize emilala omuli okukozesa ebilagara lagara ebibakyusa obwongo bwabwe ne bava ku mulamwa nabyo babyettanira nnyo, songa bino tebilina kye bibayamba.
Okwogera bino yabadde ayogerako eri abantu abakungaanidde ku kyalo Kikuumambogo ekisangibwa mu Gombolola ye Kasangombe e Nakaseke, ku mukolo gw’okwanjula kw’omuyambi we mu kitundu kino Samuel Mutiibwa.
Wano we yasinzidde nategeeza abavubuka mu kitundu kino okubeera abatetenkanya beenyigire mu mirimu egigenda okubakulakulanya omuli okulima, n’emirimu gye byemikono bibayambe okufunamu ku nsimbi ezibayamba mu mbeera zaabwe ezabulijjo.
“Ewaffe eno ensiko nyingi nnyo okutali yadde ekilimibwako, songa ettaka ggimu nnyo kwe musobola okulimira ebirime nze ne mbakana na gwakunoonya butale e Kampala, kubanga tebusobola kumbula nga emmere weeri.
Ekilala mbasaba mukomye omuze gw’okutunda ettaka bazadde bammwe lye babalekedde kubanga nze nga Minisita ow’ekisikirize ow’ensonga ze ttaka sisobola kubakubiriza kutunda ttaka kubanga Buganda eyimiriddewo ku ttaka.
Ndabula abantu mwenna abefunyiridde okunyaga ettaka ly’abatuuze nga temubaliyiridde, ebyo sijja ku bikkiriza mu kitundu kye nkulembera kubanga bivudde obutali butebenkevu, n’okubonabona kwabantu abatalina musango” Luttamaguzi bwe yategezezza.
Ye aluubirira okufuuka omubaka omukyala owa Disitulikiti ye Nakaseke Esther Nakawooya yasabye abatuuze kuluno okubeera ab’egendereza nga balonda abakulembeze, kye yagambye nti kati Uganda yeetaaga bavubuka ate balina amaanyi ne ddoboozi nga basobola okw’ogera ebiruma abantu baabwe ate ne bikolwako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com