ABATUUZE abawangaalira mu Ttunduttundu elimanyinddwanga Luwero Triangle, nga kino kigatta ma Disitulikiti omuli Luwero, Kiboga, Kyamkwanzi, Mityana, Mubende, Mpigi, Wakiso Mukono ne bitundu ebirala abaali abakulu mu kiseera olutalo olw’aleeta Gavumenti eri mu buyinza eya NRM, bwobasanga olutalo luno balunyumyanga lutabaalo.
Abamu bwe bajjukira ebyaliwo bayunguka amaziga ne bakaaba, abalala bakwata ku matama ne babanga ababikire, ate abandi tebagaala kukomya kukuttottolera nnaku n’ebizibu bye baalaba mu kiseera ekyo.
Muzeeyi Christopher Nsaali ow’okukyalo Bukobogo mu Gombolola ye Semuto e Nakaseke agamba nti mu kiseera ekyo yalina emyaka 27, era nti yalina emirimu gy’okusuubula emmwanyi gye yali akola.
“Nagenda okuwulira olugambo ku kyalo nti waliwo abayekera abaali bayingidde e Kiboga, nti era baali bagenze ku poliisi ye Kiboga ne basumulula abasibe abaali basibiddwa ku misango egy’enjawulo.
Wano nayongera okwetegereza amawulire gano okuzuula oba ddala gaali matuufu, ekyaddirira kwe kusamba akagaali kange ne ngenda mu ka Town ke Semuto gye bantegeereza nti ddala kituufu.
Waaliwo mukwano gwange eyali yakwatibwa ku mulembe gwa Obote n’asibwa ku poliisi ye Kiboga, Mande Sempiira twali tuli awo tukyewunaganya nga atuuse, kwe kumubuuza baani abamutadde? yatutegeeza nti abasajja bazze ne mmundu nga abamu bali mu ngoye ezabulijjo ne balagira abaselikale babate mangu ddala.
Yatutegeeza nti kwaliko eyali nga abakulembedde eyabeyanjulira nti ye Yoweri Museveni era nabagamba nti abaagala bamweyungeko basobole okulwanyisa effuga bbi erya Pulezidenti Obote, eyali akkulembera mu kiseera ekyo.
Awo nawulira nga akabugumu kanzinze mu mubiri kubanga nali nayagala dda Obote aveeko ku bukulembeze nga nsinziira ku bigambo bazadde baffe bye baatugambanga nti yeyavaako Obwakabaka okuvaawo saako n’okutta Ssekabaka Muteesa, era ekyaddirira kwe kutandika okunoonya Abasajja ba Yoweri gye baalaze.
Ekyamazima eka akawungeezi eko ssaddayo, wabula twavuga akagaali okutuuka mu katawuni ke Wobulenzi nga tugezaako okunoonya omu ku kitange John Katende eyali Musajja wa Kabaka mu kitundu ekyo atusalire ku magezi butya bwe tuyinza okweyunga ku bayekera, twatuuka obudde bukutte era n’atutegeeza nti agenda kutuyunga ku Nadduli.
Twali tuli awo ekiro ekyo nga ne Nadduli gwe baali boogeddeko atuuse era ffenna natutwala okutuuka we twasanga abaselikale n’abavubuka abalala netubegattako.
Oluvanyuma Museveni yajja era nayogerako gye tuli natwebaza okuvaayo ne tumwegattako tulwanirire emiremba mu ggwanga lyaffe, era natugumya nti twali baakuwangula nga ne Obote tumujjeeko.
Wano yatukwasa omugenzi Sserwanga Lwanga eyali agenda okubeera naffe saako n’okututendeka, ye ne yeyongerayo ne Nadduli.
Oluvanyuma nga tugenze tukuguka twatandika okulumba abajaasi ba Gavumenti ya Obote, saako n’okunoonya abayizi b’amassomero abatwegattangako buli kaseera nga bano twabapererezanga okugenda batubegere wa abajaasi ba Gavumenti gye bali saako n’okumanya kiki kye baliko.
Twalwana olutalo ne tuluwangula naye kye siyinza kwerabira ye mukwano gwange Ssempiira okuba nga yanfaako nga tetutuuse naye ku buwanguzi.
Naddayo eka nga ndi mu byambalo bya maggye nasanga ab’oluganda lwange banerabira era nga baali bamanyi nafa dda, beekanga nnyo” Nsaali bwe yategezezza.
Yamenye abantu bajjukkira mu lutalo olwo, omwali Haji Abuduh Nadduli, Haji Sseddunga, Salim Saleh, Serwanga Lwanga, Ikondere, Rwijema nabalala bangi.
Agamba nti ye teyalwana afune byabugagga, wabula yalwana olwe ffuga bbi elyaliwo mu kiseera ekyo, era nanyonyola nti yali yettanira mirembe gyokka kudda mu Uganda.
“Yadde nga Museveni alina by’akoze nga omukulembeze omuli enguudo n’amasanyalaze mu kitundu kino ekye Luwero, naye abantu baffe bakyali baavu nnyo, saako ne balwanyi banange bali mu mbeera mbi, abantu abasinga batunuulira abaasigala mu maggye bokka, wabula abantu bangi abalina kye baakola okuleeta Gavumenti eno mu buyinza, nga abamu bafudde nga baavu nnyo tebalina n’akyebalya.
Tumusaba ave ku bantu abamubuzabuuza ku nsonga z’abalwanyi be kubanga ffenna atumanyi bulungi era bwatulaba mu maaso ge atuyita mannya gaffe, kale tumanyi nti akyatumanyi era tulindirira abeeko kyakolera abalwanyi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com