ABAKULIRA enzikiriza y’obuwangwa ne nnono batandise kawefube agendereddwamu okusobozesa abagoberezi baabwe okw’ekulakulanya, nga mukyo bagenda kutandikawo bbanka mwe bagendanga okutereka saako n’okwewola basobole okwekulakulanya.
Banka eno etuumiddwa STAR Uganda Sacco, era nga saawa yonna etandika okukola abagoberezi batandike okuganyulwa.
Bwe yabadde atongoza Bbanka eno ku kitebe kye nzikiriza eno ekisangibwa ku kyalo Kirowooza mu Ggombolola ye Goma e Mukono ku lw’okusatu, agikulembera Ssabakabona Jjumba Lubowa Aligaweesa yabikkudde ekyama n’agamba nti bulijjo abagoberezi b’enzikiriza eno babadde bali mabega, nga kino bakikoze okusobola
okuzzaamu abantu baabwe amaanyi, nabo basobole okwenyumiriza saako n’okuganyulwa mu zimu kuntekateekka nga abakulembeze ze babatereddewo.
“Abantu baffe babadde bamaze ebbanga nga bagenda bugenzi mu masinzizo okusinza kwokka, nga tebalina nkola y’akwekulakulanya gye basangayo, kati tugenda kubabuulira enjiri nga ate bwe tubasomesa n’engeri gye bayinza okwejja mu bwavu.
Banange okukulembera abantu mu nzikiriza nga baavu nnyo kiba kibi, kubanga ne byoba obabulira byonna bibayita ku mitwe kubanga baba ne birowoozo biyitirivu ku mitwe gyabwe, ogenda okwesanga nga abamu bazze okusinza naye nga tebalidde kyaggulo, abamu nga abaana babagobye mu massomero,abalala nga balwadde ne zibatwala mu malwaliro tebaziraba ne bizibu ebilara bingi.
Naye bwe bababaamu ne ku kasente ebintu byanguwa, ate era bbo benyini ne b’ekulakulanyiza amasinzizo gaabwe kubanga baba balina obusobozi.” Jjumba bwe yategezezza.
Yayongeddeko nti tebagenda kusosola muntu yenna kasita aba nga akkiririza mu nzikiriza eno, nti era bagenda kuwola abagoberezi ensimbi ku miwendo egy’awansi okulaba nga tebalemererwa kuzza nsimbi.
Muno bagenda kuwola abalina bu bizinensi obutonotono, abalimi, abagoba ba boda boda ne mmotoka nabalala abanekennenyezebwa nga basanidde okuba nga basobola okukozesa ssente zino.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com