OMUTEGESI w’ebivvulu Tonny Ssempijja eyakazibwako erya (Tonny The Promoter) avuddeyo ne yeewanira ku mutegesi munne ow’ebivvulu Balam Balugahare, nga bwe yamubuuka edda era naabuusa ne Pulezidenti Museveni, gwayogeddeko nti Balam amaze ebbanga nga amujjako ensimbi nga yerimbise mu kuyamba abayimbi.
Ssempijja agamba nti Balam talina ky’asobola kuyamba bayimbi mu ggwanga okujjako okubalemesa buli kye bakola nga tayagala bafune nsimbi, olw’okuba ayagala yekka yaaba omugagga olwo asigale nga akozesa abayimbi nga bwayagala.
“Nze Ssempijja nkooye Balam okunninyirira buli kaseera nga agamba nti sikyali mutegesi wa bivvulu, naye mutegeeza akimanye nti nze namusooka mu kintu kino nga teri yadde amumanyi era nga mwavu lunkupe, eyali tasobola yadde okwogera eri abantu.
Era njagala mutegeeze bwaba abadde agenda ewa Pulezidenti Museveni najjayo ensimbi z’abayimbi, kati kye kiseera alekere awo kuba muzeeyi namubuusizza ne mulaga nti Balamu tayagala muyimbi yenna kumusemberera, kubanga ye ne Bebe Cool babadde bamufudde lusuku okumujjangako ensimbi nga bamulimba nti zigenda kukola ku nsonga z’abayimbi.” Ssempijja bwe yategezezza.
Okwogera bino abadde ayanukula ku mbeera eriwo wakati w’abategesi b’ebivvulu nga balwanagana olw’ensimbi ezisoba mu kawumbi Pulezidenti Museveni z’eyabawa ku ntandikwa y’omwaka, ezaali ez’okubaliyirira oluvanyuma lwa Poliisi okusazaamu ebivvulu bye baali bategese ku Ssekukkulu n’ekulusooka omwaka, ebyali eby’okwetabwamu Omuyimbi Bobi Wine.
Nga wano wewaava obutakkaanya nga ekiwayi ky’abategesi abaakulemberwamu Balam bagamba nti Tonny yabba ensimbi ku banne abakosebwa embeera y’okusazaamu ebivvulu.
Wabula Ssempijja agamba nti kituufu basisinkana Pulezidenti era ne bamukaabira ennaku gye baali bayitamu oluvanyuma kwe bivvulu byabwe okusazibwamu, era naabategeeza nti yali wakutunda ku ndaawo ze zalunda abasasulire kubanga abasinga baali mu mabanja okuva gye beewola, era naye kye yakola, bonna naabasasula.
Agamba nti mu kiseera ekyo Balamu ne banne baali tebalinaayo kivvulu kyonna, era nga talaba nsonga lwaki abawa ku nsimbi ze yali afunye okuva ew’omukulembeze w’eGgwanga kubanga zaali zaabo bokka abaategeka ebivvulu Bobi wine gye yali asuubirwa okuyimba.
“Balamu abadde amanyi ye waakabi yekka atuuka ew’omukulu, era nga alinyirira buli muyimbi eyeekuusa ku bakulu nga Gen. Saleh kati bonna bamubuuse kubanga abadde afera bufezi ate nga byajjayo ku lwaffe tabituusa.
Muzeeyi namaze dda n’okumutegeeza ku nsonga z’abakanyama era nabo agenda kubawa beekulakulanye kubanga twakkaanya emmundu zive mu bivvulu nga bakanyama b’ebagendanga okukola mu bantu wakati mu bivvulu okusinga ab’ebyokwerinda abalina emmundu.” Ssempijja bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com