OLUVANYUMA lw’Abayizi b’ekibiina eky’omusanvu okutuula ebibuuzo byabwe eby’akamalirizo omwaka oguwedde, kyadaaki ebyava mu bigezo bino bifulumiziddwa abakulira ekitongole kye byenjigiriza mu Ggwanga.
Akulira ekitongole kye bigezo mu Ggwanga Dan Odongo bwabadde alangirira engeri abayizi gye baakolamu agambye nti, wabaddewo okukola obulungi mu mwaka ogwa 2018, bwogerageranya n’emyaka egiyise, olw’okuba abayizi abawerera ddala 91 ku 100 basoboledde ddala okuba nga bayise era bagenda kufuna amabaluwa gaabwe naye ebitundu omwenda bbo baviiriddemu awo kuluno.
Odongo anyonyodde nti Abayizi abawerera ddala 77133 bebayitidde mu ddaala elisooka okuva ku 671923 abatuula ebigezo bino, okuva mu bifo ebyatulirwamu ebiwerera ddala13072 okwetoloola eggwanga lyonna.
Ayongeddeko nti abayizi ebitundu 71 baava mu massomero ga Gavumenti wansi we nkola ya UPE, ate ebitundu 27 ne biva mu g’obwananyini, nti era guno gwe gumu ku mwaka abayizi abawala gwe babadde nga basinga abalenzi obungi kubanga babadde 346,963 ate nga abalenzi baabadde 324,960.
Ategezezza nti naye ekyo tekigaanye bayizi balenzi kuleebya bawala nti kubanga 41,000 bayitidde mu daala erisooka, ate abawala baabadde 35,000.
“Olungereza lye ssomo abayizi bano lye baasinze okukola, ne liddirirwa Social Studies ne Science naye okubala kuluno kwakoleddwa bubi, era ekimu ku by’asinze okuyamba abayizi okuyita kwe kuba nti bongedde ku mutindo gwe mpandiika mu masomo gonna.” Odongo bwe yagambye.
Bwabadde akwasibwa ebivudde mu bigezo bino Minisita avunanyizibwa ku byenjigiriza mu ggwanga Janet Kataha Museveni agambye nti kuluno tebagenda kugumikiriza basomesa bagayavu, nti kubanga be bavuddeko abayizi okukola obubi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com