EYALI Ssabaddumizi wa Poliisi ye Ggwanga Gen. Kale Kayihura olwaleero alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti y’amaggye etuula e Makindye, n’alagirwa akomewo nga 4 omwezi ogw’okubiri omwaka guno.
Ategezeddwa nti abakulira oludda oluwaabi bakyagenda mu maaso n’okunonyereza obujulizi bwe banaleeta okumulumiriza mu misango egimuvunanibwa.
Era kitegerekese nti akyalina okumala akaseera nga alindako olw’ensonga olunaku olutuufu olw’okuwulirirako omusango gwe telunnaba kulondebwa, olw’abanonyereza okuba nti omulimu bagutwala kasoobo.
Ono olwaleero azze mu kimpowooze era nga ayise mu mulyango ogw’ebbali olwo nalyoka yesogga Kkooti, era olumaze okumusomera nafuluma mangu nayingira emmotoka z’ekitongole kyamaggye ne zimutwala era nga tayogeddeko n’abamawulire.
Abadde awerekeddwako abamweyimirira okuva mu kkomera mu mwezi gw’omunaana omwaka ogwaggwa okuli Major Gen. Samuel Kavuma, Major Gen. James Mugira, n’omubaka mu Palimenti owe kitundu kya Entebbe Munisiparite era nga kizibwe we, Rosemary Tumusiime.
Kinajjukirwa nga 24 omwaka oguwedde, Gen. Kayihura yasimbibwa mu maaso ga Ssentebe wa Kkkoti y’amaggye Lt.Gen Andrew Gutti, bwe yali nga yakamala ennaku 76 mu nkomyo e Makindye, era nasomerwa emisango egy’ekuusa ku kulemererwa okukuuma ebintu eby’eyambisibwa mu ntalo saako n’okukwenyigira mu kuwamba bannansi b’eggwanga lya Rwanda ne bazzibwa ewaabwe ku buwaze, era gyonna najegaana, era nazzibwa mu kkomera.
Wabula oluvanyuma nga wayise ennaku 4 yakomezebwawo mu Kkooti yeemu era n’ateebwa ku kakalu ka Kkooti, nalagirwa okudda nga 7 January.
Oludda oluwaabi olukulemberwamu Major Raphael Mugisha lugamba nti wakati w’omwaka gwa 2010 ne 2018 Gen. Kayihura yakkiriza okuwa emmundu abakulembeze b’ekitongole kya Boda Boda 2010 nga kwotadde n’omukulembeze waabwe Abudallah Kitatta awataali kugoberera mateeka, nti era yalemererwa okulondoola emirimu gy’ebitongole bye by’okwerinda omuli ekya Flying Squard, Specialised operations unity ne kya Crime intellincence mu Poliisi.
Kigambibwa nti era yalagira abaselikale abali wansi we ne bawamba bannansi ba Rwanda 3 abaali bazze mu Uganda okunoonya obubudamu okuli Lt. Joel Mutabaazi, Jackson Kalemeera ne Sgt. Innocent Kaliisa.
Bino byonna Ssentebe wa Kkooti Lt. Gen. Andrew Gutti yabiwuliriza naye era nagenda mu maaso namuyimbula ku kakalu ka Kkooti, kyokka namutekako oukwakkulizo omuli bwaba atambula obutasukka Disitulikiti okuli Kampala ne Wakiso.
Era yalagirwa obutaddamu kufuluma wabweru wa ggwanga nga tafunye lukusa kuva mu Kkooti, saako n’okweyanjulanga eri omuwandiisi wa Kkooti buli mwezi, nga bwe yali ow’okulemwa ebyo ekyandidiridde kusazaamu kweyimirirwa kwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com