PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni ku lusooka omwaka yakyaddeko mu lutikko y’omutukuvu Yokaana esangibwa e Kasaka mu Ssaza lye Gomba era nga eno ye kkanisa enkulu ey’obulabirizi bwa masekkati g’aBuganda gye yalese nga abakulisitaayo babugaanye essanyu, olw’ebintu bye yabalekedde.
Eno Museveni yatonedde abakulisitaayo obukadde 20 mu buliwo, ate ne yeyama obulala 280 bubayambe okumaliriza ennyumba y’obulabirizi.
Kuno yabagattiddeko okubakolera oluguudo lwa kkolaasi, oluweza obuwanvu bwa kilomita 2 okuva mu ka tawuni ke Kanoni okutuuka ku lutikko e kasaka, okubawa ttulakita 3 empya ttuku zibayambeko mu kulima ku ttaka ly’obulabirizi eddene lye balina mu ngeri y’okwongenza ku birime bye bafulumyaokutunda ebweru, Ente nnusu bulaaya zebagenda okujjangamu amata okusobola okugatunda beekulakulanye nga kwotadde n’okugabirako ezimu abakulisitaayo abalunzi, Ekyuma ekisa obuwunga bw’akasooli ekigenda okutekebwa ku ttaka lya lutikko kiyambe abakulisitaayo nga kwotadde ne mmotoka loole egendanga okusomba ebirime byabwe.
Museveni yabakubirizza bino okubikozesa obulungi basobole okwekulakulanya, era nalabula n’abavubuka okukola ennyo bave mu kutwalibwa omuyaga gwe by’obufuzi ebitabayamba ate nga tebalina sente mu nsawo.
Ye Omulabirizi wa Masekkati ga Buganda Micheal Lubowa mu kwogera kwe yanenyezza abantu abadda ku mikutu emigatta abantu ne batanula okuvumirako Pulezidenti gwe yayogeddeko nga omukkakkamu atabaddamu wabula bwatuuka okwogera ayogera ku nkulakulana yokka.
Wabula abalengerera ewala ebintu, okukyala kwa Pulezidenti Museveni e Kanoni baakutadde ku nkola ye gy’akozesa okubala eby’obufuzi, kubanga mu lutikko eyo ey’omutukuvu Yakaana Famire y’omubaka wa Kyadondo mu Palimenti Robert kyagulanyi abakulisitaayo bonna gye basabira.
Ekitundu ekya Town Council eye Kanoni Bobi Wine gy’azalibwa, gye yakulira era alinayo obuwagizi bungi okuva mu b’oluganda lwe, emikwano, b’eyakula nabo ku kyalo saako n’abakadde abaali mikwano gya Kitaawe.
Okukyala kuno kwandiba nga kwategekeddwa okusobola okukkakkanya ku buwagizi Kyagulanyi bwalina mu Gomba, saako ne bitundu ebilinanyewo.
Wabula ekitundu kye Gomba Museveni ne Kyagulanyi bonna bakirinamu emigabo kubanga Museveni alinayo amaka agasangibwa e Kisozi ku faamu ye, ne kyagulanyi gye bamuzaala era nga yeeri n’ebiggya gye bamuziika.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com