SSENTEBE w’akabondo ka babaka abava mu Buganda era nga ye Mubaka wa Mukono South mu palimenti Johnson Muyanja Ssenyonga asabye banna Uganda okwettanira okugaba omusaayi nti kuba kiyamba okutaasa obulamu bwa bantu abali mu bwetaavu bwagwo mu malwaliro eg’enjawulo.
Muyanja agamba nti abantu bangi wanno mu ggwanga bafiirwa abantu babwe ng’entabwe eva ku bbula lya musaayi mu malwaliro, nti naye singa buli muntu yeewaayo n’eyenyigira mu kikolwa kino obulamu bwa bantu bangi bujja kwongera okutaasibwa.
Bino yabyogedde aggulawo olusisira lwe by’obulamu olwabadde mu kibangirizi ky’ekifo ekisanyukirwamu ekya Satelite Beach e Mukono ku lw’omukaaga, nga lutegekeddwa eddwaliro lye Naggalama saako ne bank ya Baroda ng’emu kungeri y’okuddiza ku bantu saako n’okubawa ku bujjanjjambi obwobwerere.
SOMA NABINO: Ebisaanyi ebizinze eddwaliro lye Ntenjeru bisattizza abalwadde
Abantu abasobye mu 400 be bebetambye mu lusisira lunno era nga bakembereddwaendwadde ez’enjawulo, omuli omusujja, akawuka akaleeta obulwadde bwa mukenenya, typhoid, amaaso wamu n’okuwebwa eddagala ku bwerere, libayambeko mu ntandikwa y’omwaka.
Ssenyonga yakubirizza abantu okugendanga mu malwaliro okw’ekebezanga ebirwadde ebitali bimu okusinga okugenda nga bayenjebuse kye yagambye nti kivaako okusasaanya ensimbi enyingi ezandibadde zikola ebilara.
Kunsonga y’okutereka yagambye nti abantu balina okutereka ensimbi mu bank, kyokka nasaba gavumenti okukendeeeza ku misolo gy’eteeka ku ma banka ag’obusuubuzi, kisobozese abantu okwewola nga bazzaayo ensimbi ku magoba amatono ennyo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com