Bya Moses Kizito Buule
SSABAMINISITA wa Uganda Hon. Ruhakana Rugunda akubirizza ebitongole bye by’okwerinda okukolaganira awamu ne bannamawulire okulaba nga Eggwanga ligenda mu maaso.
Rugunda agamba nti mu Nsi ezikyakula tewetaagawo mbeera yonna eyinza kwawukanya bitongole byombiriri, olw’okuba kumpi byonna bikola omulimu gumu wakati mu kutambuza e Ggwanga.
Okw’ogera bino yabadde Mbuya ku kitebe ky’Amaggye awategekeddwa ekyeggulo eky’etabiddwamu abakulira ebitongole by’amaggye n’abakulembeze ba Bannamawulire mu Ggwanga, nga omu ku kawefube w’okulaba nga ebitongole byombiriri byegatta okulaba nga e Ggwanga ligenda mu maaso.
“Bwe muba musobola okugenda mu lutalo nga abamu balina emmundu, abalala nga balina ekkalaamu ne kkamera, lwaki mulumangana nga mukomyewo awetagisa okukwatagana, ebyo musaanye mubikomye” Rugunda bwe yagambye.
Yayongeddeko nti amawulire n’ebyokwerinda bisobolera ddala okusaanyawo e Ggwanga singa tebakwatagana bulungi, nga kino kiyinza n’okuletawo akatabanguko mu Ggwanga, nga n’olwekyo okukwatagana kintu kikulu nnyo.
Ye Minisita w’ebyokwerinda Gen. Elly Tumwine yagambye nti ebitongole bye by’okwerinda ennaku zino bikolaganira wamu okujjako gy’ebuvuddeko bannamawulire baali bagezaako okubyawulamu nagamba nti kino tekijja kuddamu kulabika.
Tumwine yayongeddeko nti bagenda kukola ekyetaagisa okulaba nga bamalawo embeera y’obutakwatagana ne bannamawulire era nawera okukola ku b’ebyokwerinda abagufudde omuze okutulugunya bannamawulire.
Ekyeggulo kyetabiddwako abakulembeze mu bibiina ebigatta bannamawulire mu Ggwanga okuli ekya UJA, HRNJ nebilala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com