Bya Moses Kizito Buule
OMUMYUKA w’omwogezi wa Gavumenti Col.Shaban Bantariza avuddeyo nateeka ekitongole kya Poliisi ku nninga kinyonyole lwaki kigenda mu maaso n’okulinnya eggere mu bivvulu by’omuyimbi Bobi Wine era omubaka wa Kyadondo East mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu.
Kino kiddiridde Bobi Wine ku lw’omukaaga okulemesebwa Poliisi okuyimba mu kivvulu ekyabadde kitegekeddwa mu kibuga kye Jinja mu Busoga, era abantu be abawerako ne bakwatibwa mu kavuvungaano akabaddewo akawungeezi ako.
Ku makya ga Mande Bantariza nga asinziira ku mukutu gwa NBS TV yeegaanyi nga omwogezi wa Gavumenti okubaako kyamanyi ku bigenda mu maaso nga ekitongole kya Poliisi kigaana omuyimbi Bbobi Wine okuyimba mu bivvulu eby’enjawulo.
yagambye nti tebamanyi lwaki poliisi ekola ekyo kubanga bbo nga aboogezi ba Gavumenti teri yali ababuliddeko nti Bobi Wine takkirizibwa kuyimba mu Uganda.
“Poliisi elina okuvaayo etubuulire lwaki egaana Kyagulanyi okuyimba kubanga ffe nga abamu tetukkiriziganya nabikolwa ebyo, era poliisi yo yenyini yemanyi ensonga lwaki ekikola esaana enyonyole” Bantariza bwe yategezezza.
Kyagulanyi yayise ku lwa Kawakya okukwatibwa Poliisi mu kibuga kye Jinja ku lw’omukaaga bwe yabadde agenze okuyimba mu kivulu eky’abadde ku City Hotel, wabula abamu ku bawagizi be nebagombebwamu obwala.
Yabadde alina okugenda mu Ekelezia ye Zziba mu Buikwe okusinza ku ssande, n’oluvanyuma yeetabe mu lukungaana lw’abantu bonna olw’eggulo kyokka naalemesebwa amaggye ne Poliisi, nga bagamba nti yabadde akikola mu bumenyi bwa mateeka.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com