Bya Moses Kizito Buule
OMUYIMA w’ekibiina kya Boda Boda 2010 Abudallah Kitatta leero lw’akitegedde nti alina emisango gy’okuddamu wamu ne banne 9 bwe baakwatibwa.
Ssentebe wa kkooti y’amaggye Lt. Gen. Andrew Gutti yakatemye Kitatta ku mande bw’abadde aleteddwa okuwulira okusalawo kwa kkooti.
Gutti agambye nti oluvanyuma lw’oludda oluwaabi okuleeta obujulizi obuwerako, bakizudde nti Kitatta ne banne balina okubaako emisango gye balina okuddamu, okuzuulira ddala oba bagizza oba nedda.
“Ebumu ku bujjulizi bwe twafuna mwe mwali Abdallah Kitatta,Ngobi Sowali and Ibrahim Ssekagya basangibwa mu motooka nnamba UAK 135B omwali emmundu era bwe baalaba abakuuma ddembe baasalawo okudduka, twebuuza baali badduka ki?” Gutti bwe yagambye
Yayongeddeko nti era mu motoka omwo mwasangibwamu amasasi agalowozebwa okuba nti ge gakozesebwanga mu mmundu eyo.
Agamba nti era baagala okumanya ebikwata ku mmundu entono Pistol, kitatta gye yasangibwa nayo ku wooteeri emanyiddwanga Vine Tea esangibwa ku luguudo Wakaliga, bwe baali bamukwata akawungeezi ako, era Kitatta ne banne 9 balina okunyonyola kkooti wa gye bajja ebyambalo by’ekijaasi bye bayambalanga era ebyasangibwa mu motooka ye.
Era kkooti egaanyi ebya puliida wa Kitatta bye okusaba nti baleete akatambi okuva ku kkamera za wooteeri ya Vine Tea okukozesebwa mu musango guno.
Bano10 bagenda kuvunanibwa emisango egy’ekuusa kukusangibwa ne bikozesebwa by’ekitongole bye by’okwerinda mu bukyamu kuliko Abdalla Kitatta,Ngobi Sowali,Ibrahim Ssekagya,Joel Kibirige,John Ssebandeke, Fred Bwanika,Hassan Ssematta,Amon Twinomujuni, Hussein Mugema.
Era nga bajja kukomezebwawo mu kooti eno nga 7 January omwaka ogujja batandike okwewozaako.
.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com