eBya Moses Kizito Buule
“Abayizi bonna b’etwgeddeko nabo batubulidde engeri Agasajja agakulu gye g’ateekawo embeera ey’obunkenke saako n’okwewera nti singa abayizi tebamala kwegatta nabo baba bajja kubasuula ebigezo, ekyo kilina okukoma!” Rwakoojo bwe yayogedde nga mukambwe.
Okwogera bino yabadde awuliriza okw’ogera kw’akulira ekitongole eky’ekikula ky’abantu mu yunivasite ye Makerere, Uzobia Baine eyabadde mu kakiiko kano ku Palimenti ku lw’okuna bwe yabadde ayitiddwa anyonyole ku mbeera nga bweri mu ttendekero lye Makerere, awagambibwa okuba nti ebikolwa bino gye bisinga.
Baine yagambye nti babadde bagezezzaako okulwanyisa omuze guno e Makerere nti naye waliyo akabinja k’abakulu abasinga okuyisa amaaso mu bakulembeze b’aYunivasite eno era nga bwe babagambako bafuuka kizibu ate nga n’abamu kubo ebikolwa bino babyenyigiramu, n’asaba akakiiko nakyo kakinonyerezeko.
Mukwanukula Rwakoojo yategezezza nti bamaze okufuna amannya gonna ag’abantu sekinoomu aba’enyigira mu bikolwa bye yaise ebikyaafu, nagamba nti bagenda olukalala kulukwasa poliisi etandikire awo bavunanibwe mu mbuga z’amateeka.
Yayongeddeko nti bwe banaakola kino basuubira nti bajja kuba bakutte ku nsonga yennyini, okusobola okukendeeza ku bikolwa bino.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com