Moses Kizito Buule
SSENKAGGALE w;ekibiina kya Democratic Party Norbert Mao akalidde mu Pulezidenti Museveni n’amutegeeza nti alina okuwummulako naye alabe nga omukulembeze omulala alayira okukwata obukulembeze bwe Ggwanga Uganda awatali kanyolagano konna.
” Naalima awagonda atera nannyuka kye kiseera mukadde waffe Pulezidenti owummule mu mirembe, otuule e Kololo wetegereze omuntu omulala nga alayira okukulembera eGgwanga lino kijja nawe kukusanyusa nnyo”. Mao bwe yategezezza.
Okwogera bino abadde mu lukungaana lwe bibiina by’eby’obufuzi byonna ebilina abakiise mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu omubadde aba DP, UPC ne JEEMA, olw’ategekeddwa ekibiina ekitaba omukago ogumanyiddwanga Inter Party Organisation Dialogue (IPOD) olutudde ku Speak Resort Hotel e Munyonyo.
Mao ategezezza nti obuyinza tebwetaaga kulemerako, nti wabula kiba kirungi omuntu nakulemberako namala naawa n’abalala n’ebatwala eGgwanga mu maaso kyayogeddeko nga ekisanyusa ennyo abantu okulaba ku nkyukakyuka ez’omuggundu.
Wano Mao atonedde Museveni enkofiira eya kilagara nga akamu ku bubonero obulaga nti kati bali kimu mu kutambuza eGgwanga, ekisanyudde abeetabye ku mukolo guno.
Mu kwanukula Museveni asoose nasiima ekitongole kya IPOD okubatabaganya, nagamba nti nga tebanayogera ku kya kukyusa bukulembeze balina okulaba nga bakolerera bannaUganda, okubajja mu bwavu saako n’okulaba nga bamalawo obumulumulu bwonna bwe balina nga abakulembeze.
Wabula ekibiina kya FDC nga kyekiddirira mu kuba n’abakiise abangi mu Palimenti tekilabiseeko mu lukungaana luno.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com