Bya Moses Kizito Buule
OLUKIIKO olugatta ebibiina bye by’obufuzi mu Ggwanga olumanyiddwanga Inter Party Organisation For Dialogue (IPOD) lutandise enkya ya leero ku Speak Resort e Munyonyo, era ebibiina bye by’obufuzi eby’enjawulo byokka ebilina abakiise mu palimenti bye bilwetaabyemu.
Ekyewunyisa ekibiina ekiddirira obunene mu Ggwanga ekya FDC era nga kirina ababaka mu Palimenti abawerako tekyetabye mu lukungaana luno, nga kigamba nti si kya buvunanyizibwa okulw’etabamu nga omukulembeze w’ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM era nga ye Pulezidenti we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni okuba nga ye mugenyi omukulu.
Amyuka Omukulembeze wa FDC Proscovia Salam Musumba agamba nti bbo nga FDC bandyagadde okubeera ekitundu ku lukungaana luno, naye kuba kubayisaamu maaso okulaba nga omuntu gwe baavuganya mu kalulu k’ebazuula nga tekaali mu mazima na bwenkanya ate ye mugenyi omukulu mu lukiiko olw’okutabagana, nagamba nti bandifunyeyo omuntu omulala naakulembera entekateeka eno, nga Museveni alina kujja nga mukiise ssi mugenyi mukulu.
Agamba nti oluvanyuma lw’okukizuula nti kiri kityo, basazeewo obutagenda Munyonyo balekere banaabwe ab’ebibiina ebilara bagende mu maaso n’olukungaana, nti kubanga tebayinza kukaayana na mugenyi mukulu kuba ajja kuba ajjidde mu bitiibwa bye nga Pulezidenti.
Ssentebe w’omukago gwa IPOD era nga ye mukulembeze w’ekibiina kya UPC Jimmy Akena agambye nti aba FDC babawandikidde era ne babategeeza nga bwe batagenda kujja kyokka ne babawa omwagaanya bagende mu maaso bakole ekyetaagisa okulaba nga bateesa ku lwa bannaUganda.
Agambye nti ebibiina nga DP, JEEMA ne UPC bimaze okutuuka era abakiise baabyo bonna be baayita bamaze okukwata ebifo byabwe nga kati ekiddirira kwe kutandika okuteesa okulaba nga ebibiina bye by’obufuzi mu Ggwanga bitabagana.
Ayongeddeko nti basuubira Omukulembeze we Ggwanga okubeegattako olweggulo lwa leero kubanga gwe baayita nga omugenyi omukulu mu lukungaana luno, era basubira nti nga luwedde bagenda kubaako ne kye batuukako ku lw’obulungi bwe Ggwanga lino.
Omukago gwa IPOD gwatandika mu mwaka gwa 2010 nekigendererwa eky’okugatta ebibiina bye by’obufuzi okulaba nga bakwatagana basobole okukolera abantu ababalonda.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com