Bya Moses Kizito Buule
ABASUUBUZI abakolera mu kifo ekimanyiddwanga qualicel Bus Terminal mu Kampala wakati, bwe bafunye amawulire g’okufa kw’abadde nanyini kizimbe kwe bakolera Charles Muhangi kubewanisizza emitima, nga beeralikirira nti bayinza okuddamu okutulugunyizibwa nga bwe kyali gye buvuddeko.
Bano bagamba nti Muhangi abadde abayisa bulungi, nti era abadde yabawaayo n’omwezi ogw’obwerere nga tebasasula nga bwe bakyetereza oluvanyuma balyoke balabe ekiddako engeri gyabadde nti yakatandika okuddukanya emirimu mu kifo kino.
Charles Anzima omu ku batunda engatto mu kifo kino ategezezza nti okuva omugagga Muhangi bwe yafuna obwannanyini ku kifo kino babadde bafunako ku buwerero, kubanga emabega baali batulugunyizibwa ekisukkiridde abakozi ba Drake Lubega eyali nannyini gye buvuddeko.
Agamba nti abakozi ba Lubega babadde bongeza ensimbi z’obupangisa buli kaseera, nti naye babadde baasaba omugagga okubakenderezaako ku nsimbi zino era abadde yakkiriza okukitunulamu nga abadde yabawa n’omwezi guno baguberemu nga tebasasudde okutuusa nga bavuddeyo n’ebisale ebiggya.
Ayongeddeko nti abasubuzi abatunda engatto, abaziyonja n’abatembeeyi baazo wansi, babadde baasaba Muhangi abajjirewo ekibaati Lubega kye yassaawo basobole okutundirawo eby’amaguzi byabwe, nti era olwakimugamba enkeera yakeera kulagira basajjabe ne bakijjawo, nti era bangi ku bbo babadde banoonyezaawo muwogo w’abaana baabwe, nti naye kati kaafudde tebamanyi kyakukola.
Muhangi yali yawangula ettaka okuli ekizimbe kino mu kkooti omwezi oguwedde nga kyali kya mugagga munne Drake Lubega gwe baludde nga bali ku mbiranyi olw’ettaka kwe kitudde.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com